PULEZIDENTI w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu wakusindikirwa empapula kwagenda okuteeka omukono okusobozesa ekibiina kye okweyunga ku kibiina ekigatta ebibiina by’obufuzi byonna mu ggwanga ki IPOD
Bitegeezeddwa minisita w’ebyamateeka Nobert Mao oluvannyuma lw’okweyanjula eri akakiiko akalondoola entabuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti okubaako bya nnyonnyola ku nzirukanya y'e mirimu mu kitongole ekivunanyizibwa kuwandiisa kkapuni ekya URSB. .
Ssentebe w’akakiiko kano Muwada Nkunyingi (Kyadondo East) amutegeezezza nti ezimu ku lipooti z’ebanoonyerezaako kuliko ey’akakiiko ekavunaanyizibwa ku by’okulonda akavunaanyizibwa ku ssente ebibiina by’obufuzi byonna ebyegattira mu mukago gwa IPOD byezirina okufuna.
Nga yeebuuza lwaki n’olwaleero ebibiina by’obufuzi ebimu ng’ekya NUP ne PFF ekikulemberwa Erias Lukwago bikyasomoozebwa okubeera kitundutundu ku IPOD okuganyulwa mu nteekateeka eno
Mukwanukula, minisita Mao agambye nti bakola ekisoboka okukkaanya ku nkola eyinza okugobererwa wadde nga pulezidenti w’ekibiina kya NUP ne PFF si bangu bakufuna mu budde buno.
Enziji eziyingira omukago gwa IPOD agambye nzigule wabula waliwo amateeka agalina okugobererwa.
Akakasizza akakiiko ng’ekiteeso ku kibiina kya NUP okwegatta ku IPOD bwekyayise wamu ne PFF nga era bali mu nteekateeka ebasindikira empapula kwebalina okuteeka emikono okukakasa mu butongole nti bafuuse ba mmemba.
Okuteeka omukono ku mpapula agambye tekibetaagisa ku beerawo mu buliwo era nga zigenda ku basindikirwa okuyita mu nkola gyeyayise DHL oba enkola endala yonna ennabeera esaliddwawo.
Nga ekinaba kisigalidde be ba mmemba b’ebibiina by’obufuzi ebinokoddwayo okukakasa nti empapula zituuka ku ba pulezidenti baabwe era nga ziteereddwako omukono.
Mao akakasizza nti ssente ebibiina ebyo byezirina okufuna nga omugabo okuva mu IPOD weziri era zaterekebwa nga ekirindiriddwa be ba pulezidenti b’e bibiina okuteeka omukono ku mpapula okufuuka ba mmemba abajjuvu.