Abazigu basse eyabadde abalemesa okubba mu dduuka

POLIISI eyigga abazigu b’emmundu abasse omuvubuka eyabadde agezaako okubalemesa okubba.

Abaserikale okuva ku poliisi e Katwe nga bali mu kifo we battidde Musenero (waggulu mu katono).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI eyigga abazigu b’emmundu abasse omuvubuka eyabadde agezaako okubalemesa okubba.
Ettemu lino lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza Mmande ku ssaawa 9:30 ez’ekiro, abazigu b’emmundu abaabadde batambulira ku bodaboda bwe baalumbye amaduuka e
Bunnamwaya Central ne Bunnamwaya Busingiri zooni ne batta omukuumi Ali Musenero abadde agezaako okubalemesa okubba mu dduuka lya Rose Baluka.
Akulira ebyokwerinda mu Bunnamwaya Central, Godfrey Kiwanuka yategeezezza
nti abazigu baasookedde ku dduuka lya Moses Ssemakula ne banyaga ssente ezisoba mu
bukadde 20, ne bagenda ku dduuka eddala mu kitundu kye Busingiri zooni ne babba emitwalo 50.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala South, Benon Ayebare ng’ali wamu n’aduumira poliisi y’e Katwe, Innocent Mubangizi baatuse mu kifo kino ne beekebejja ebifo abatemu bye baalumbye. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti bakyanoonya abazigu nga bwe banaakwatibwa baakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Yagambye nti abapoliisi bakyali mu kitundu awaakoleddwa ttemu nga
beetegereza kkamera eziri mu kitundu nga bye banaazuula kwe bajja okusinziira okulaba  ga bakwata abazigu bano.