Abasirikale ba poliisi mu Busoga North, batandise okugezesebwa ku ngeri gye bayinza okukkanyamu obujagalalo

Abasirikale ba poliisi mu Busoga North, batandise okugezesebwa ku ngeri gye bayinza okukkanyamu obujagalalo n'okwongera okukuuma emirembe. 

Abasirikale abali mu kutendekebwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abasirikale ba poliisi mu Busoga North, batandise okugezesebwa ku ngeri gye bayinza okukkanyamu obujagalalo n'okwongera okukuuma emirembe. 

Mu nteekateeka eno etandise leero, era bakwongerwa okubangulwa mu bukodyo obwenjawulo nga muno mugenda kubaamu n'okukuba omukka ogubalagala n'amasasi. 

Okutendekebwa kuno nga kwakukomekkerezebwa ku Lwokutaano, kuli ku ssomero lya Kiwolera army Primary School , era ng'omwogezi wa poliisi mu kitundu ekyo Micheal Kasadha agumizza abatuuze abaliraanyewo obutekanga nnyo nga bawulira ebibwatuka.