EKKANISA ya Uganda ekungubagidde eyali akulira eddwaliro ly’e Mengo ssaako n’ekitongole ky’ekkanissa eky’obujanjambi ekya Protestant Medical Bureau.
Zacharis Kalega (87) yayogeddwaako ng’erafubana okusitula omutindo gw’obujanjabi mu ddwaliro ly’e Mengo mu kiseera mwali alikulira nga era yasooka kubeera akulira eby’eddagala mu ddwaliro lino

Su 6
Ssabalabirizi w’ekkainia ya Uganda Dr. Stephen Kazimba yagambye nti Kalega abadde mulokole awanamaddala era akutte ku bangi mu by’omwoyo ne mu bulamu obwa bulijjo ng’ayita mu bibiina bya nnakwewa by’abadde akulira .
Bino Ssaalabirizi Kazimba yabyogeredde mu kikanka ya St. John - Kawuku mu busabadinkoni bw’e Luzira ku Lwokubi bweyabadde abuulira mu kusaba okw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Kalega obubadde obw’omuwendo eri eggwanga lyonna.
Yagambye nti Kalega okutandikawo ekibiina ekiyambako ku bali mu bwetaavu ekya Hope by Need (HONU) amasomero okuli pulayimale,Siniya n'ettendekero ly'ebyemikono mu Bukuya mu disitulikiti ye Kassanda kwali kwolesebwa okuva eri Katonda

Okusabira omwoyo gw'omugenzi
“Mu byonna Kalega okutandika eddwaliro lya Grade II e Kitokolo e Bukuya ssaako n’okufuba okukulaakulanya ekkanisa y’omuluka eya All Saints - Kitokolo okusitula embeera y’obualamu bw’abantu obw’Omwoyo n’omubiri kyakulwawo nga kimujjukirwako,” Sabalabirizi Kazimba bwe yagambye.
Ye omulabirizi wa Kampala eyawummula Hannington Mutebi yagambye yeenyumiriza mu Kalega kuba yamuwabula ku ky’okusoma diguli mu by’eddiini okuba ebisaanyizo oby’okulondebwa ku bulabirizi byali bitandisi okukaluba okuva ku dipulooma.
Ye omulabirizi wa Nimrembe eyawummula Wilberforce Kityo luwalira omugenzi Kalega yamwogeddeko ng’omuntu eyalaba ekkubo ly’obulokozi ara ng’afubye okutambulira mu bwerufu mu byonna.
Namwandu Robinah Kalega yagambye nti omugenzi bba Katonda yeyamumuwa oluvannyuma lw’okusaba era yaliba ebisanyizo by’omusajja gweyali yeegomba okufumbirwa .
“ Nzijanjabye baze emyaka etaano n’omutima guno kuba mbadde musasula ebyo byonna by’amukoledde mu bulamu awatali ku njuza,” Robinah Kalega bwe yagambye .
Kalega abadde mutuuze w’e Kawuku – Bunga atuttte ekiseera ng’atawaanyizibwa mu mubiri okutuusa bweyafudde ku nkomerero ya wiiki ewedde nga waakuziikibwa ku Lwokusatu e Kitolo Bukuya mu disitulikiti ye Kassanda