ABASOMESA mu nsomesa empya eya siniya ebangula abayizi okubeera abayiiya mu buli ngeri eya Competence based curriculum) basabiddwa okulondoola enneeyisa y’abayizi n’engeri gyebakolamu ebintu nga tebali ku masomero.
Omuwandiisi w’obulabirizi bw’e Mityana Rev, Canon Paul Sekweyama yasabye abasomesa okuteekayo omwoyo okulondoola abayizi mu maka n’ebitundu gye babaeera okulaba nga balinawo enjawulo esobola okukyusa abalala okuzinsziira kw’ebyo ebibasomesebwa. ,
“ Kyewunyisa okusanga omuyizi wa siniya ng’ayoza ebintu omuli amasowaani ng'abyanika ku pasikalamu . Ensoma empya ebangula omuyizi okubeera omuyiiya mu byonna ng’okuzimba akatandaalo okwanikibwa ebintu mu maka lyandibadde tteeka eri omuyizi wa siniya kuba tekyetaagisa ssente okukakola wabula obuyiiya ,” Canon Sekweyama bweyagambye.

Bannaddiini nga bamaze okusabira abaana
Bino Canon Sekweyama yabyogeredde mu kkanisa ya All Saints- Kitokolo mu busunnba bw’e Kyamusisi mu bulabirizi bw’e Mityana mu gombolola ye bukuya mu disitulikiti ye Kassanda ku Lwokuna ng'abayizi b’essomero lya Kizibawo pulayimale 91 abagenda okutuula ebigezo by’akamalirizo bawongebwa eri Katonda.
Ye omukulu w’essomero lino Yoweeri Ntege yagambye eky’abazadde mu byalo okwongera okutegeera omugaso gw’okusoma kyongedde ku bungi bw’abayizi mu masomero.
Ekibiina kya Hope for the Needy – Uganda HONU ekiddukanya essomero lino nga liyimbibwkoa gavumenti mu nkola ya bonna basome nate kiddukanya siniya , ettendekero ly’ebyekono , eddwaaliro ku mutendera gwa Health Centre II wamu n’ekanisa y’omuluka eya All Saints- Kitokolo okusobola okuzimba emyoyo gy’abayizi n’abantu mu kitundu kyenyumiriza mwebyo ebituukiddwaako ebikyusizza obulamu bw’abantu mu kitundu.
Akulira ekibiina kino Annette Akankwasa yagambye nti abayizi bali mu kifo kino oluva mu pulayimale okutuusa webamaliriza okusama abamu nebatandika okukola okweyimireizaawo.
Akulira okulambula amasomero mu disitulikiti ye Kassanda Frank Lukwago yagambye nti okusomozesebwa kw’amasomero ga gavementi kukyaliwo naddala mu byalo nga kino kyekizingamya eabayizi nebatakola bulungi mu bigezo ebyakamalirizo.
Yagambye nti bangi ku bazadde tebaagala kuwa baana baabwe mmere ku masomero abamu bwebakakibwa okuwa ssente zekyamisana nga baloopa mu bakungu ba gavumenti .

Okusabira abaana nga kuwedde
“Abasomesa tebamala bayizi ate abamu ku bazadde tebaagala kuwaayo ssente za kupangisa basomesa okwongereza kw’abo ababaweebwa gavumenti,” Lukwago bweyagabye.
Disitulikiti ye Kassanda erimu amasomero ga pulayimale agayambibwako gavumenti agawera 100 ate aga siniya gali 13.
Ssentebe w’;eggombolola ye Bukuya Gayi Asansio yalabuddde amasomero obutakkiriza mazina na nnyimba ez;obuseegu mu masomero nga bwekizze kirabyako awamu