Amawulire

Ekitongole ky’amazzi kifunye obuwumbi 250 okubunyisa amazzi mu Masaka

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku mazzi ne kazambi mu ggwanga ekya National Water and Sewerage Corporation ettabi ery’e Masaka kifunye ensimbi obuwumbi 250okwongera ku bungi bw’amazzi e Masaka.Maneja w’ettabi ly’e Masaka, Jackson Nimusiime yategeezezza nti, wadde babadde n’ebifo ebisunda amazzi okuli; Kidda, Misaali, Gayaza, Buwunga ne Kimaanyanaye gabadde tegamala nga kino kibadde kibawaliriza okuwaako ebitundu ebimu ebirala ne bisigala nga tebigafunye.

Ekitongole ky’amazzi kifunye obuwumbi 250 okubunyisa amazzi mu Masaka
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku mazzi ne kazambi mu ggwanga ekya National Water and Sewerage Corporation ettabi ery’e Masaka kifunye ensimbi obuwumbi 250
okwongera ku bungi bw’amazzi e Masaka.
Maneja w’ettabi ly’e Masaka, Jackson Nimusiime yategeezezza nti, wadde babadde n’ebifo ebisunda amazzi okuli; Kidda, Misaali, Gayaza, Buwunga ne Kimaanya
naye gabadde tegamala nga kino kibadde kibawaliriza okuwaako ebitundu ebimu ebirala ne bisigala nga tebigafunye.
Nimusiime yagambye babadde basunda amazzi liita 8,000 kokka nga kati baakwongerezaako ge bagenda okujja e Bukakata ku nnyanja mu bungi bwa liita 24,000
era nga kino kigenda kugonjoola obuzibu ekitongole kye bubadde nabwo.
Yagambye nti amazzi agagenda okuva e Bukakata tegagenda kugonjoola ku kizibu kya bungi bwokka wabula era gagenda kwongera ku buyonjo.
Yanokoddeyo ebirala ebibadde bibasomooza nga kuliko amasannyalaze agavavaako buli kadde, enguudo ezikolebwa mu Masaka City nga bano batema ppayipu kw’oteeka abagabba kyokka nga kati bataddewo ababalondoola nga singa omuntu akwatibwa awalirizibwa okusasula n’okusibwa.
Omuwi w’amagezi ag’ekikugu mu kitongole ky’amazzi mu Uganda, Phillip Vullien yategeezezza nti pulojeketi eno yaakutwala ebbanga lya myaka ebiri era nga basuubira
mu February wa 2026 ebitundu ebibadde n’obuzibu bw’amazzi bigenda kuba biteredde.
Vullien yagambye nti amazzi gano nga bagasunze okuva e Bukakata baakuteeka ttanka e Kako, Kitovu ne Bwala nga wano we ganaava gabunyisibwe mu bitundu
bya Masaka City.
Yayongeddeko nti, ebirala ebigenda okukolebwa, kuliko okulongoosa Bukoyolo ne Kasijjagirwa ewakuhhaanira kazambi, okuggala ezimu ng’eri ku kitebe kya poliisi e Masaka n’okulongoosa kaabuyonjo z’olukale mu ppaaka ya Nyendo.
Ssentebe wa Divizoni ya Nyendo- Mukungwe, Michael Mulindwa yategeezezza
nti waliwo ebifo nga bibadde tebifunanga mazzi naye ate waliwo n’ebyo nga gye gali
naye tegabeerako n’agamba enteekateeka eno yaakubayambako.
Yanokoddeyo ebyalo okuli Kiwaala, Bulayi, Luvule, Kasaala, Kyalusowe, Kalagala, Mulema, Buchulo gy’agamba nti wadde amazzi gaatuukayo naye tegabeerako.
Mulindwa yagambye nti n’ebitundu nga Nakayiba, Nyendo, Misaali, Mukudde, Kayirikiti, Nnume ne Kitovu by’afuna amazzi naye mu biseera bya ppereketya gababonyaabonya.
Mmeeya w’ekibuga Masaka, Florence Namayanja yagambye nti wadde ekitongole kibadde kigezezzaako okubunyisa amazzinaye ate okuyunga ebizimbe ku
kazambi kibadde kikyali kizibu mu kibuga kuno kw’oteeka n’ebitundu ebyeyungako.
Namayanja yategeezeza nti beesanga nga waliwo n’ebizimbe ebinene wakati mu kibuga nga bannannyini bizimbe tebabiyunga ku kazambi naye nga kati bakwataggana
n’ekitongole okulaba nga kikolebwako.
Yalaze obwennyamivu olw’okusaanyaawo entobazzi n’emigga n’asaba abakulembeze
banne n’abakugu abavunaanibwa okukwatira awamu okukirwanyisa nti singa tekikolebwako mangu bagenda kwesanga nga n’amazzi ge basuubira okuggya e Bukakata gakalidde

Tags: