OMUDDO gw’ekibwankulata okuva edda nga gulina emigaso njolo mu kuwonya
endwadde, wadde nga bajjajjaffe baasinganga okugukozesa okuwonya n’okujjanjaba amabwa.
Guno muddo gumera kumpi buli wamu, ku ttale ne mu nsuku z’abantu, gulina ekikoola ekigazi ekirimu emigaso egiwera okujjanjaba endwadde ez’enjawulo, gukaawa ekiguleetera okubaamu ekirungo ky’eddagala eriwera.
Madiinah Kasoma, ajjanjabisa eddagala ly’obutonde e Ntebe agamba nti: 1 Ekibwankulata okuva edda nga kikozesebwa nnyo okuwonya omuliro, singa omuntu ayokebwa amazzi oba okwokebwa omuliro, okunywa ekibwankulata kino n’amazzi gaakyo n’ogatonnyeza awaayokedddwa omuliro nga kigukaza.
Kikola nnyo ne ku mabwa amalala agatali ga muliro omuli ne alusa, nga era okola kye kimu, okunywa n’okutonnyeza awali ekiwundu, ne kiwona mangu.
2 Kikola bulungi okujjanjaba obulwadde bwa kabootongo mu bato n’abakulu, buno engeri gye bubeera munda, okifumba n’onywa era tekimulabako. 3 Erinnyo nga libadde likuluma, funa ebikoola by’ekibwankulata obikunye bulungi oteeke awali erinnyo erikuluma lijja kukkakkana. 4 Ekifuba ekikolokoota, funa ebikoola by’ekibwankulata, sooka obiyiseeko ku muliro kiwotookerere oteeke mu kamwa otandike okugaaya nga bw’omira amazzi agavaamu.
5 Kiyamba okukomyawo obwagazi mu bakyala naddala bannabukalu. Wano okifumba n’onywa. 6 Abalwadde ba puleesa, bw’owulira ng’erinnnye oyinza okukigaaya n’omira
mazzi. 7 Okwecanga kw’olubuto ng’obadde ofunye obutwa bw’emmere mu mubiri,ekibwankulata kino ddagala nnyo Endwadde za fangaasi ne bakitiriya zigobe na kibwankulata era ofumba n’onywa n’okugaaya
ebikoola n’omira amazzi.
8 Abalina ssennyinga akutte ennyindo nga zizibikidde, ofumba ne weeyoteza, kiteewulula emisuwa n’ekiwanga n’otereera.
9 Kiyamba ku bulwadde bwa alusa obutawaanya ennyo abantu ensangi zino,
ekibwankulata okifumba n’onywa.
10 Kikozesebwa ne mu kujjanjaba omusujja gw’ensiri, ofumba n’onywa n’okweyoteza n’otuuyana.
11 Endwadde z’omutwe ekibwankulata ddagala nyo, weeyoteza n’okufumba n’onywako.
12 Endwadde z’ensusu, ofumba n’onywako n’okuyenga n’osiimuula awali ekirwadde n’amazzi Lwamukaaga - Ssande February 24 - 25, 2024 Lwamukaaga - Ssande February 24 - 25, 2024 Amina Nalumu, omutuuze w’e Najjanankumbi ajjanjabisa obutonde agamba nti:
l Ekibwankulata kivumula ekigalanga ne alusa, bw’oba okikozesa ku bulwadde bwa alusa oteekamu n’akaddo akayitibwa bwanda n’ofumba n’onywa. l Ku mabwa g’oku ngulu ku lususu, ofumba n’oganyiga n’amazzi agookya, ate abalina amabwa mu bitundu by’ekyama nayo onyigisaayo ekibwankulata ng’okifumbyeko.
l Kiggyawo olusu olutera okubeera mu bitundu by’abakyala ebyekyama, kuba kijjanjaba
endwadde ezibeerayo. Osobola okukiyenga n’okikunya n’oteekayo ebikoola ebyo okumala ekiseera ne kitereeza embeera.
l Okukankana, buno bulwadde butera okukwata abantu naddala abakuliridde mu myaka, nabwo ekibwankulata kino kikozesebwa okubatereeza. Osobola okuyenga n’onywako oba okukifumba n’onywa.
l Omugejjo mu baana n’abakulu, ekibwankulata kino kiyamba okutereeza entambula y’omubiri omuntu n’atereera, yenga onywe.
l Ensimbu, omuntu alina obulwadde buno weekwate ekibwankulata. Osobola okuyenga oba okukifumba n’onywa.
l Okukaluubirizibwa mu kweyamba eri abaana oba abakulu, yenga ebikoola by’ekibwankulata obisonseke awafulumirwa mpolampola nga tobibulizzaayo, obirekeyo okumala ekiseer nga bbiri obiggyeyo, ojjakusumulukuka bulungi.
Olubuto nga lubadde lucankalanyeera fumba onywe. POamturidcdko A gbwbae yk aKmaytou, nogmau btawbeu gzui fwa’aendadnaag.ala ly’ekinnansi e Ssisa, ng’anoga ekibwankulata ky’alima mu nnimiro ye ey’eddagala. Ayagala okusala omugejjo nywa kibwankulata DOrm. Gudodow ignw Aa nyway. POamtuiedndcoe gDwean iksaem Myuus niigmae . OAmuindad oN aglwuam u. OMmaduidindaoh g Kwaas oma.
EOkmibuwdadno kguwlaat aka emkiyfu mngbaid bdwea ako. ago agava mu kibwankulata ky’okunyizza. 13 Obulwadde bwa Asima nabwo kibukkakkanya, ofumba
ne weeyotezaako, kizibukula amawuggwe ne gatereeza bulungi okussa. 14 Endwadde eziyita mu muwaatwa gw’omusulo. Okifumba n’onywa n’okukitawaaza n’owona
okusiiyibwa n’amabwa g’oyinza okubaayo nago. 15 Kizibukula enseke ezaazibikira, ’ensonga lwaki kireeta n’obwagazi mu bakyala kuba kisumulula ensulo, enseke ne ziddamu okutambuza obulungi emirimu. 16 Ekibwankulata kino kikozesebwa mu kwongera amaanyi mu baserikale b’omubir