Eddwaliro lye Mukono teririna bikozesebwa eri abagudde ku bubenje

Dec 31, 2023

Eddwaliro lya Mukono General Hospital lyekubidde enduulu eri gavumenti n’abazirakisa okulikwasizaako okwongera okutereeza empeereza naddala bwe gutuuka ku ky’abantu abagwa ku bubanje.

Omulwadde ku kagaali nga bamutwala mu ddwaliro okukolebwako.

Henry Nsubuga
Journalist @Bukedde

Eddwaliro lya Mukono General Hospital lyekubidde enduulu eri gavumenti n’abazirakisa okulikwasizaako okwongera okutereeza empeereza naddala bwe gutuuka ku ky’abantu abagwa ku bubanje.

Akulira enzirukanya y’emirimu mu ddwaliro lino, Moses Bwogi ategeezezza nti eddwaliro mu kiseera kino teririna waadi ya bagudde ku bubenje nga beeyambisa kifo ewatuukirwa abalwadde abava ewaka ekimanyiddwa nga OPD ekikosa empeereza y’emirimu eri abasawo n’okukaluubiriza abalwadde ssaako abajjanjabi.

Mu bimu ku bikosa empeereza y’emirimu eri abagudde ku bubenje, Bwogi anokoddeyo eky’okuba nti eddwaliro lirina obugaali (patient trolleys) bubiri bwokka kwe beebesa ababa bagudde ku bubenje nga babajja mu mmotoka eziba zibatutte mu ddwaliro okubatwala gye baba bagenda okubajjanjabira sso nga buno babukozesa ne waadi y’abakyala abazaala ssaako obugaali (wheel chairs) mwe batuuza ababa bagudde ku bubenje nga tebasobola kutambula busatu bwokka nga ne buno babugabana ne waadi y’abakyala abazaala.

“Olw’abalwadde abangi ddala abajja mu ddwaliro lino buli lunaku, twandyetaaze ‘patient trolleys’ ekitono nnyo 10 ne ‘wheel chairs’ musanvu ezandibadde zitandikirwako. Olw’embeera eno gye tukoreramu, twesanga ng’abalwadde ababa bagudde ku bubenje abasinga obungi tubateeka mu ambyulensi ne tubongerayo mu malwaliro nga Kiruddu oba Mulago ne wankubadde ng’abasawo abakugu abandibadde babakolako omuli n’ab’amagumba eddwaliro libalina,” Bwogi bw’annyonnyodde.

Ono ayongeddeko nti era eddwaliro teririna byuma byekebejja balwadde ababa bagudde ku bubenje okumanya obuvune bwe baba bafunye bwe bwenkana okuli ekya X-Ray ne CT Scan ng’eno okusinga ekebera ababa bafunye obubenje nga bakoseddwa ku mitwe.

Abasawo n'aba Save a Youth nga batongoza zebra crossing

Abasawo n'aba Save a Youth nga batongoza zebra crossing

Okwogera bino, ono abadde ayogera eri bannakyewa abavubuka abeegattira mu kibiina ekya Save a Youth (S.A.Y) ababadde batongoza ekifo abantu we basalira oluguudo ekimanyiddwa nga ‘Zebra Crossing’ ekisiigiddwa ku luguudo mwasanjala olwa Kampala-Jinja mu maaso g’eddwaliro lino.

Bwogi mu mbeera eno asiimye minisitule y’eby’obulamu olw’okudduukirira eddwaliro n’emmotoka ya ambyulensi eyayongedde amaanyi mu kitongole ky’okwongerayo abalwadde ababa beetaaze obujjanjabi obusukkiridde nga kati eddwaliro liwezezza bbiri okugatta ku yasooka okugulibwa munisipaali y’e Mukono.

Omusikale wa poliisi y’ebidduka, Naboth Nuwagaba eyakuliddemu enteekateeka y’okusiiga ‘Zebra crossing’ eno yagambye nti eno egenda kuyamba n’abasirikale b’ebidduka ababadde basanganga obuzibu okusikangana ebitongi n’abavuzi b’ebidduka buli ku makya nga babayimiriza okuwa abalwadde ekyanya okusala oluguudo nga n’abamu naddala abagoba ba bodaboda tebaagala kuyimirira ekiteeka obulamu bw’abalwadde ku matigga okuli n’abakyala b’embuto ababa bagenda ku ddwaliro okunywa eddagala n’okuzaala nga n’abamu baba batambulira ku bodaboda.

Nuwagaba era ategeezezza nti emirundi egimu bwe batwala mu ddwaliro abantu ababa bafunye obubenje batuukayo ng’obugaali kwe bayinzaa okubeebasa babatwale bakolebweko tebuliiwo ne bakaluubirizibwa n’asiima enteekateeka eziwomeddwamu omutwe aba Save a Youth n’agamba nti tezisaanye kukoma ku kusiiga ‘Zebra crossing’ wabula basale n’amagezi eddwaliro lifuneyo ku biyambako mu kudduukirira ababa bagudde ku bubenje.

Paul Ssenyonga akulira ekitongole kya Save a Youth akunze abavubuka okukuliramu enteekaateeka y’okulwanyisa obubenje ku makubo nga balonkoma abavuzi b’ebidduka abayisa olugaayu mu bubonero bw’okumakubo okuli n’abatayagala kuyimrira ku ‘zebra crossing’.

Isaac Ssebuliba nga y’omu  ku bali ku bboodi ya Save a Youth yeeyamye nga bwe bagenda okugulira eddwaliro obugaali mwe batambuliza abalwadde bubiri. Ssebuliba asiimye gavumenti olw’okusuumusa eddwaliro lino, okulizimbamu ebizimbe eby’omulembe omujjanjabirwa n’okuddukanyizaamu emirimu n’asaba lyongerwemu abasawo abatuuka ku mutendera kwe liri n’okuteekamu ebikozesebwa omuli n’okuteekamu waadi y’abagudde ku bubenje ate erimu buli kyetaagisa.

Okusinziira ku nsengeka ya Minisitule y’eby’obulamu nga bagoberedde amalwaliro amanene gonna mu ggwanga, Mukono General Hospital lyakwata kyakubiri mu kugaba obujjanjabi eri abantu okuddirira Kitgum Generaal Hospital.

Bwogi yategeezezza nti eddwaliro omwaka gw’eby’ensimbi oguwedde lyawa ebitanda abalwadde 13,323, abalwadde 39,127 be baafuna obujjanjabi ne badda ewaka, abantu 20,202 baakeberebwa akawuka akaleeta mukenenya nga ku bano, 607 baazuulibwa nga balina akawuka era ne bateekebwa ku ddagala, abakyala 8,927 be baazaalira mu ddwaaliro sso nga 3,833 be bakyala abaalongoosebwa nga bazaala. Bbo ba baama 29,511 be baagenda mu ddwaliro okunywa eddagala. Abalwadde 18 be baafa, sso ng’ate abakyala babiri bokka be baafa nga bazaala

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});