Mutabani w’eyali Pulezidenti aleppuka na misango gya ttaka

May 08, 2024

DR. LULE Ntwatwa 64, mutabani w’omugenzi Polof. Yusuf Kironde Lule (eyaliko Pulezidenti) awonye okusindikibwa mu kkomera oluvannyuma lw’okuweebwa akakalu ka kkooti.

Ntwatwa mu kkooti.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

DR. LULE Ntwatwa 64, mutabani w’omugenzi Polof. Yusuf Kironde Lule (eyaliko Pulezidenti) awonye okusindikibwa mu kkomera oluvannyuma lw’okuweebwa akakalu ka kkooti.
Yasimbiddwa mu kkooti ku misango gy’okulimba ofiisa wa poliisi, okwekobaana okuzza omusango n’okuwaayo ebiwandiiko ebigambibwa okubeera ebijingirire.
Dr. Ntwatwa, omutuuze wa Aggrey zooni mu Ndeeba mu munisipaali ye Lubaga mu Kampala, yasimbiddwa mu kkooti ya LDC mu maaso g’omulamuzi Martins Kirya n’amusomera emisango esatu.
Ntwatwa avunaanibwa okuwa amawulire ag’obulimba eri omukozi wa gavumenti. Kigambibwa nti Ntwatwa ne Stuart Kateregga Mulangira, mu 2019 baawa No. 29025 D/CPL Lubowa amawulire nti be bannannyini kibanja ekitunudde mu kkeberero lya gavumenti Gavumenti ku nkulungo y’e Mulago mu zooni ya Kimwanyi ku luguudo lwa Kasule.
Omusango ogwokubiri ogubavunaanibwa gwa kwekobaana kuzza musango era nga kigambibwa nti wakati wa 2019 ne 2020, Dr. Ntwatwa ne Kateregga mu lukujjukuju beekobaana okutwala ekibanja kya Paasita Daniel Walugembe ekisangibwa maaso g’ekkeberero lya gavumenti ku nkulungo y’e Mulago kye bagamba nti baagula ku Bulasio Bwisomu mu myaka gya 1990.
Omusango ogwokusatu gwa kuwaayo biwandiiko bijingirire era nga kigambibwa nti nga September 2020 e Wandegeya ku poliisi, Ntwatwa ng’akitegedde era mu bugenderevu yawa omuserikale wa poliisi Lubowa lisiiti za busuulu ng’agamba nti zaamuweebwa ffamire ya Ashe Sendawula Mukasa.
Emisango gyonna Ntwatwa yagyegaanyi wabula Kateregga bwe bavunaanibwa teyabaddewo.
Omuwaabi wa gavumenti Timothy Aduti yategeezeza kkooti nga bwe bagenda okugattako owookusatu ku fayiro, Hassan Waswa Ntongo akyaliira ku nsiko.
Ntwatwa ng’ayita mu puliida we Umaru Nyanzi, yasabye okweyimirirwa era omulamuzi Kirya n’amuyimbula ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 50 ezitali za buliwo n’abamweyimiridde akakadde kamu akatali ka buliwo. Yamulagidde okudda mu kkooti nga May 27, 2024 okuwulira omusango ogumuvunaanibwa

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});