Bp. Kagodo aweze obubaga bw’abayizi ba S.4 ne S.6 mu masomero g’ekkanisa.

May 08, 2024

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo aweze mbagirawo obubaga amasomero bwe gategekera abayizi abali mu bibiina eby’akamalirizo okuli S.4 ne S.6 obumanyiddwa ennyo nga ‘Prom party’.

Bishoo Kagodo ng'ayogera mu lukung'aana lw'Obulabirizi

Henry Nsubuga
Journalist @Bukedde

Bp. Kagodo aweze obubaga bw’abayizi ba S.4 ne S.6 mu masomero g’ekkanisa.

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo aweze mbagirawo obubaga amasomero bwe gategekera abayizi abali mu bibiina eby’akamalirizo okuli S.4 ne S.6 obumanyiddwa ennyo nga ‘Prom party’.

Ng’asinziira mu lukiiko n’abakulu b’amasomero g’ekkanisa mu bulabirizi bwe, Bp. Kagodo yagambye nti amaze ekiseera nga yeetegereza ebikolebwa mu bubaga buno n’ebigendererwa byabyo n’alemererwa okuzuula amakulu gaabwo n’agamba nti busaanidde buyimirire obutaddamu kubeerayo mu masomero g’ekkanisa.

Okuliiko lw’omulabirizi n’abakulu b’amasomero lwatudde ku kitebe ky’obulabirizi e Mukono mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokuna.

“Okumala emyaka ena eri abayizi ba S.4 oba emyaka mukaaga eri aba S.6, amasomero gaba gabatangira okwetaba mu nsonga z’omukwano wakati w’abawala n’abalenzi, eky’ennaku, ate ku kabaga kano akamanyiddwa nga ‘prom party’, ndaba abayizi nga bali babiri babiri omuwala n’omulenzi. Kati okwo si kwoza n’oyanika mu ttaka?” Omulabirizi bwe yeebuuzizza.

Yagambye nti eky’ennaku, abayizi ku lunaku lwe lumu bakozesa ebiragalalagala omuli okunywa enjaga n’omwenge, n’abamu baba bagenderera kuggwamu nsonyi, era mbu ekivaamu kwenyigira mu bikolwa bya bwenzi wakati w’abayizi abalenzi n’abawala.

“Kye tulaba ng’omukolo ogw’olunaku olumu, twesanze ng’abawala abamu bafunirawo embuto ne batuuka okuva ne mu by’okusoma. Ekyo ssaagala kuddamu kukiwulira mu masomero gaffe,” bwe yalagidde.

Abamu ku bakulu b'amasomero abeetabye mu lukiiko lw'Obulabirizi

Abamu ku bakulu b'amasomero abeetabye mu lukiiko lw'Obulabirizi

Obubaga buno bubeera okusinga mu masomero ga ssekendule ng’abayizi abali mu S.4 ne S.6 bambala ne batonnya mmooli ne batambula ku ‘red carpet’ ng’omulenzi akumba n’omuwala ng’abagole omukazi n’omusajja. Abayizi nga bwe baba basiimaganye, omulenzi n’omuwala buli kimu bakikola babiri omuli okuzina n’okwewa ebiralabo. Okusinga obubaga buno bubeerawo ng’olusoma lwa ttaamu ey’okusatu lunaatera okuggwako.

Okusinziira ku mulabirizi, kyewuunyisa okulaba ng’abayizi mu masomero g’abawala bokka n’abalenzi bokka, abasomesa bakola enteekateeka abawala ne bagenda mu g’abalenzi bokka ne bakola kye kimu nga bwe guba mu masomero omuli abalenzi n’abawala.

Akulira ekibiina ekigatta abakulu b’amasomero mu bulabirizi bw’e Mukono, Susan Wamala Sserunkuuma ng’era mukulu wa ssomero lya Mukono Boarding Primary School mu kibuga Mukono yategeezezza nti wadde obubaga ekika kino bwabeeranga mu masomero ga ssiniya gokka, nti ennaku zino amasomero n’aga ppulayimale gatandise okubutegekera abayizi ba P.7 kye yagambye nti si kituufu.

Wamala yategeezezza nti wadde ng’ekigendererwa ky’obubaga ekika kino tekyali kibi mu ntandikwa, mu kiseera kino amasomero gakijunguludde ng’omusango guli ku basomesa n’abazadde ababujanjawazza ne basukka busussi.

“Teri nsonga lwaki omuyizi atuuka okupangisa emmotoka, ng’ate kati tubadde tukyali kw’ekyo, baatandise n’okupangisa ennyonyi, kibi nnyo era tusaanye twekomeko,” bwe yagambye.

Ku wiikendi, essomero erimu erisangibwa e Bwebajja mu disitulikiti y’e Mukono, abayizi omulenzi n’omuwala baapangisizza enyonyi gye baatuukiddemu ku ssomero nga bagenze okwetaba ku kabaga kano aka ‘prom party’.

Ekikolwa kino kyawaawazza abazadde amatu, ne bakivumirira nnyo ssaako ne minisitule y’eby’enjigiriza mu ggwanga.

Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebya waggulu, John Chrysostom Muyingo yeewuunyizza oba nga ddala kino kiri mu Uganda n’agamba nti omuzadde ne bwe yandibadde alina ensimbi nga zimuyitaba, tekyetaagisa kuziwa muyizi kupangisaamu nnyonyi kugenda mu kabaga.

“Ensimbi kintu kya muwendo nga ne bwe kityo tezisaanye kudiibuudwa bwe zityo. Ye bannange, ekikolwa ekyo kiwa kifaananyi ki abaana baffe?” Minisita bwe yeebuuzizza n’agamba nti amasomero galina okiuteekawo enkola erungamya obubaga buno.

Omukulu w’essomero lya St. Cyprian High School e Kyabakadde, Joseph Kamya yagambye nti abazadde wamu n’abasomesa be banenyezebwa olw’embeera y’obubaga buno evudde ku mulamwa.

“Ng’abakulira amasomero tusaanidde okulambika butya obubaga buno bwe bulina okukwatibwamu kuba bwetaagisa. Abayizi ku mutendera ogwo balina bingi bye babuyigiramu. Nze ndowooza tetusaanidde kubuwera wabula tulina kubulungamya bulungamya,” bwe yagambye.

Ate omu ku bakkansala ababudaabuda abantu era omuzadde Sarah Nakintu yagambye nti abazadde abayiwa omusimbi omunene mu bayizi baabwe olw’obubaga buno bakola kikyamu.

Wabula Nakintu yategeezezza nti okubuwera si y’ensonga kuba omuyizi ssinga aziyizibwa okukola ebimu ku bintu nga bino mu kiseera ekituufu ng’aliko ne bakalabaalaba ng’abasomesa, ate bw’atuuka nga taliiko amukuba ku mukono be bayizi abafuuka ekitalo nga batuuse ku yunivasite kuba buli ky’alaba kiba kipya

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});