Amawulire

Eby'okwerinda mu Busoga binywezeddwa nga balindirira Kyagulanyi

Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu Busoga East, ng'omu ku b'esimbyewo okuvuganya ku kifo ky'e ntebe oyobukulembeze bw'e ggwanga ku kaadi ya NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu, atuuka mu kitundu ekyo enkya ( ku Lwokutaano) . 

Eby'okwerinda mu Busoga binywezeddwa nga balindirira Kyagulanyi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu Busoga East, ng'omu ku b'esimbyewo okuvuganya ku kifo ky'e ntebe oyobukulembeze bw'e ggwanga ku kaadi ya NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu, atuuka mu kitundu ekyo enkya ( ku Lwokutaano) . 

Kyagulanyi, bamusuubira okusookera e Iganga era nga poliisi esabye abawagizi be, okukuuma emirembe n'okwewala okusika omuguwa n'abebyokwerinda. 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti bamaze okukaanya ku bifo n'amakubo, Kyagulanyi wagenda okuyita n'okukuba olukungaa a. 

Alabudde aba boda okwewala okuvugisa efujjo , n'okwewala amakubo agabeera gaggaddwa. 

Ayongedde okusaba eyesimbyewo, okuwuliziganya obulungi n'abakuumaddembe okulaba nga byonna, biggwa mirembe

Tags: