Ensangi zino, ekigambo ‘AI’ tekiva ku mimwa gy’abantu. Ku mikutu gimugattabantu; ebifaananyi ne videyo ezimu ogenda okulaba ng’abalabi bagamba nti za AI. Kino no kiraga engeri AI gy’esensedde obulamu bwaffe okutwaliza awamu.
Ne gavumenti eteekateeka kuleeta misomo gya ttekinologiya egya AI (Artificial Intelligence) mu masomero. Bagenda kuteekawo ‘curriculum’ nnamba okusobola okuyamba abayizi bonna okuli n’abaliko obulemu okugiganyulwamu.
Dr Fredrick Edward Kitoogo, akulira Uganda Institute of ICT (UICT) agamba nti emisomo gino gigenda kuyamba abayizi okukozesa AI okuyiiya ebintu ebyenjawulo ebyoleka obuwangwa n’ennono. Era bajja kusobola okutondawo emirimu, batumbule obulimi, eby’obujjanjabi, bizinensi n’ebyenjigiriza.
Abasomesa nabo bajjakufunamu kubanga bagenda kukozesa ebyuma ebyomulembe okusomesa, kibawewuleko ku mirimu.
Kitoogo agamba gavumenti era egenda kuteekawo ebifo bya AI (hubs) mu bitundu ebyenjawulo okwetooloola eggwanga mu ngeri y’okubunyisa ttekinologiya mu ggwanga.

Dr Fredrick Edward Kitoogo Principle Uganda Insitute of ICT