Flavia Opio, akulira ekitongole kya gavumenti eky’obuyiiya ekya National ICT Innovation hub, akoowodde abasuubuzi, abayizi, abalimi, abakozi b’omu ofiisi n’aba gavumenti okweyunira emisomo gya ttekinologiya egy’obwereere.
Hub eno eri wansi wa minisitule ya ttekinologiya.
Opio agamba nti emisomo gino giyamba abasuubuzi okutandikawo bizinensi empya n’okukulaakulanya enkadde, gattako okuyamba abakozi okutumbula emirimu gyabwe.
Hub eno oba giyite ettabiro, yatandikibwawo gavumenti okusomesa bannayuganda enkozesa ya ttekinologiya basobole okukulaakulana n’okutambulira ku mutindo gw’ensi yonna.

Abazadde bajjumbidde omukolo
Ku hub eno, agamba nti era waliwo omuntu w’asobola okukolera singa abeera talina ofiisi era ng’aweebwa ne yintaneti gattako kompyuta nga byonna bya bwereere.
Wabula Opio agamba nti yadde ng’emisomo gya bwereere, abantu tebagyettanidde. Abamu bagamba nti ebyo bizibu nnyo byetaaga bavubuka.
Bino Opio yabyogeredde ku mukolo gw’okutikkira abayizi ku ssomero lya Shiperoy Primary school erisangibwa e Makindye mu Kampala.
Ye Shirley Gladys Nakyejwe, omukugu mu bya ttekinologiya ku minisitule y’ebya ttekinologiya agamba nti; “Kitukakatako ffenna okweyunira ttekinologiya kubanga ensi egenda mu maaso tedda mabega.”
Ebintu bingi bikyuse era naawe tolina kulekebwa mabega. Okugeza, Nakyejwe agamba nti emabegako abantu nga bakozesa ssimu za ku mmeeza kyokka ezo zaggwaako kati bakozesa za mu ngalo okuli ne yintanenti.

Abasomesa nga bali wamu ne dayirekita Mabel Ssemuju

Opio ayongerako nti balina n’ekimotoka kye bayita ‘digitruck’ nga kino kyetooloola eggwanga lyonna okusomesa abantu ebya ttekinologiya okuli engeri omusuubuzi oba omulimi gy’asobola okukozesa essimu oba kompyuta okutunda ebyamaguzi bye. Kisimba ku buli disitulikiti okumala omwezi mulamba era nga kyakeetooloola disitulikiti 30. Abantu abasukka mu 8,000 be baakasomesebwa okuli n’abaliko obulemu naddala bamuzibe