Abayizi ba yunivaasite basabiddwa okubeera abasaale mu kulwanyisa enguzi era n’okukozesa obulungi emikutu gya yintanenti gimugattabantu.
Bino byayogeddwa akulira kkooti enkulu (Principal Judge) Hon. Lady Justice Jane Frances Abodo bwe yabadde asisinkanye abayizi abaasobye mu 400 okuva mu yunivaasite ez’enjawulo mu ggwanga. Baabadde mu lukungaana lwabwe olwa Inter-University Leadership Conference ku Lwomukaaga nga November 22.
Olukungaana lwategekeddwa ekibiina kya balooya abakyala ekya Female Lawyers Network (FLN) nga lwabadde ku National ICT Hub e Nakawa mu Kampala.
Omulamuzi Abodo yalabudde abayizi bafeeyo nnyo ku bye bateeka ku mutimbagano. Bwe bibeera bikyamu, bijjakubakosa mu maaso nga banoonya emirimu kubanga yintanenti etereka ate abantu bangi bagikozesa.
Yagambye nti ennaku zino, babboosi basooka kunoonyereza ku mukozi nga tebannamuwa mulimu era ebiseera ebisinga bakozesa yintanenti kubanga nyangu nnyo. Oli ateekamu linnya, nga byonna abifuna. Kati nno teebereza singa bagwa ku vidiyo oba emboozi zo nga si nnungi. Olwo omulimu gubeera tegukusubye?

Owoomukaaga okuva ku kkono ye Justice Monica Kalyegira, addiriddwa Dr Pius Bigirimana, Principle Judge Jane Frances Abodo, omulamuzi Sarah Lang, Dr Patricia ne Dr Joyce Nalunga Birimumaso
“Byonna by’oteekayo, gwe kimanye nti yintanenti ejjakubitereka ppaka,” bwe yabalabudde.
Ye Dr. Pius Bigirimana, omuwandiisi ow’enkalakkalira mu kitongole ekiramuzi mu kwongera kwe yakkaatirizza omugaso gw’okubeera n’empisa, obwerufu awamu n’ensa naddala mu bakozi ba gavumenti. Yagambye nti empisa n’okusukkuluma tebyawukana nnyo era byombi bikola ky’amaanyi mu nkola y’emirimu ennungi. Yasabye abayizi okukuumanga empisa era babeerenga n’ensa ku mirimu nga bino bijja kubayamba okwewala ebikolwa ebimenya amateeka ng’okulya enguzi n’obubbi.
Mu ngeri y’emu, Dr. Patricia Achan Okiria, omumyuka wa Kaliisoliiso wa gavumenti yasabye abayizi okubeera abasaale b’enkyukakyuka nga balwanyisa enguzi ekudde ejjembe mu ggwanga ensangi zino. Era yabasabye okusoosowaza obwerufu n’okuteeka abakulembeze ku nninga bawe embalirira mu buli bye bakola.
‘‘Enguzi ezingamya enkulaakulana n’obwesigwa mu bitongole naddala ebya gavumenti buggweerewo ddala ate era demokulasiya naye asereba,” bwe yagambye.
Mu mawanga mangi naddala agaakula, Okiria agamba nti abavubuka babeera ku mwanjo mu kulwanyisa enguzi, kwe kusaba n’abavubuka ba Uganda okulabira ku bannaabwe.
Ne Hon. Lady Justice Sarah Langa Siu, omulamuzi wa kkooti enkulu yakkaatirizza omugaso gw’okusoma n’asaba abavubuka okugattanga ku bitabo bye balina olwo basobole okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe n’okukulaakulanya eggwanga.
Olukungaana luno lwabadde wansi w’omulamwa; "Strategic Leadership for Youth: Building Visionary, Innovative, and Impact-driven Leaders for a Sustainable Future.” Era lwawagiddwa MTN MoMo Pay, Uganda Communications Commission (UCC), Uganda Revenue Authority (URA), Harris International ne Newmans.