Ebyafaayo by’Ekkanisa ya Westminster Abbey n’Obwakabaka bwa Bungereza

EKKANISA ya Westminster Abbey esangibwa mu mu masekkati g’ekibuga kya Bungereza ekikulu London y’Ekkanisa enkulu ezze ekolerwamu emikolo gy’Obwakabaka bwa Bungereza emikulu!

Ebyafaayo by’Ekkanisa ya Westminster Abbey n’Obwakabaka bwa Bungereza
By Williams Ssemanda
Journalists @New Vision
#Amawulire

Ekkanisa ya Westminster Abbey esangibwa mu mu masekkati g’ekibuga kya Bungereza ekikulu London y’Ekkanisa enkulu ezze ekolerwamu emikolo gy’Obwakabaka bwa Bungereza emikulu omuli amatikkira, embaga z’Obwakabaka, n’okusabira ababa bafudde mu lulyo Olulangira okumala ebbanga erikunukkiriza mu myaka 1,000!!.

Ekkanisa y’emu ekoleddwaamu n’omukolo omukulu ogw’okusabira omwoyo gw’abadde Kkwiini wa Bungereza eyafa nga September 8, mu lubiri lwe olwa Balmoral, e Scotland, ku myaka 96. Mu kkanisa y’emu Kkwiini mweyagattibwa n’okutikkirwa.

Ekkanisa Ya Westminster Abbey bw'efaanana.

Ekkanisa Ya Westminster Abbey bw'efaanana.

Ekkanisa eyasooka okuzimbibwa mu kifo kino yateekebwawo mu kyasa eky’ekkumineekimu (11) ng’ezimbibwa Kabaka Edward (the Confessor). Kyokka eno eriwo era eyindiddemu omukolo gw’okusabira Kkwiini yazimbibwa okuva mu 1245, wansi w’obukulembeze bwa Kabaka Henry III ng’ezze eddaabirizibwa.

Egimu ku mikolo egyakolebwa mu kkanisa eno

  1. Embaga ya Kkwiini Elizabeth II ne bba, Omulangira Philip eyaliwo nga November,20, 1947.
  2. Amatikkira ga Kkwiini agaaliwo nga June 2, 1953 era ng’omulundi Kkwiini gwe yasemba okugiyingira nga mulamu yali azze mu kusabira bba, omugenzi Philip ng’afudde nga March 29, 2022.
  3. Embaga y’omumbejja Anne (muwala wa Kkwiini omu yekka gwe yazaala) bwe yali afumbirwa bba, Captain Mark Phillips nga November 14, 1973.
  4. Embaga y’Omulangira William (kati nnamba emu ku balinze okulya Obwakabaka) ng’awasa Kate Middleton, nayo yali mu kkanisa eno nga April 29, 2011.
  5. Mu kkanisa y’emu, mwe mwali okusabira Omumbejja Diana ng’afudde nga September 6, 1997, ssaako okusabira nnyina wa Kkwiini eyafa nga April 9, 2002.
  6. Kabaka eyasooka okuziikibwa mu kkanisa eno ye Edward mu 1066 ne bajja nga baziikamu abalala bangi okutuusa mu 1760. Bakabaka ba Bungereza 13 ne ba Kkwiini bana omuli ne Elizabeth I, bonna baaziikibwa mu kkanisa eno.

Kabaka George II ye Kabaka eyasemba okuziikibwa mu Kkanisa eno, olwo ne batandika okuziika mu kkanisa ya St. George's Chapel (ne Kkwiini  Elizabeth II mw’agenda okuziikibwa), mu Lubiri lwa Windsor Castle n’awalala.

(Ebifaananyi bya AFP)