Ebiwalirizza kkooti enkulu okuyimiriza omusango ku looya

KKOOTI enkulu eyimirizza omusango ogubadde guvunaanibwa munnamateeka w’omu Kampala Felix Kintu Nteza mu kkooti ento.

Omulamuzi Muwata
NewVision Reporter
@NewVision
#Ebiwalirizza #kkooti enkulu #okuyimiriza #omusango #looya

Bya Ponsiano Nsimbi

KKOOTI enkulu eyimirizza omusango ogubadde guvunaanibwa munnamateeka w’omu Kampala Felix Kintu Nteza mu kkooti ento.

Munnamateeka Kintu owa Kintu Nteza & co. Advocates abadde avunaanibwa mu kkooti ento omusango ogwekuusa ku ndagaano gye yayamba okukolera abaana b’omugenzi George Kamya nga baguza kkampuni ya Interlink Education Services ettaka eriwezaako yiika 15, erisangibwa e Gimbo Busiro ku bbulooka 220, poloti 64.

Omulamuzi Isaac Muwata bwe yabadde awa ensala eno, yategeezezza nti olw’okuba waliwo omusango ogw’engassi aba Interlink Education Services gwe baawawaabira abaabaguza ettaka lino ne munnamateeka waabwe Nteza mu 2014.

Bano babadde bavunaana abaabaguza ettaka okulemwa okutuukiriza ebyali mu ndagaano y’obuguzi n’obutunzi okwali okubawa ekyapa n’okuggya abasenze ku ttaka lye baabaguza.

Omulamuzi yagasseeko nti ensalawo ya kkooti enkulu mu musango gw’engassi ejja kuba emala okusalawo eggoye ku ani yatunda naani alina okuzza ssente obuguzi bwe buba bwalema.

Olwokwewala okuwa ensala ezikontana mu kkooti enkulu n’eya wansi, omulamuzi Muwata yakirabye nga waliwo obwetaavu okuyimiriza omusango mu kkooti ento ogubadde mu maaso g’omulamuzi Fedelis Ottawa ogwateekebwayo mu 2022, kkooti enkulu esobole okumaliriza okuwuliriza n’okuwa ensala yaayo mu musango ogwasooka.

Yannyonnyodde nti singa omusango aguleka ne gugenda mu maaso mu kkooti ento, Nteza eyali munnamateeka w’abaaguza aba Interlink Education Services ettaka ajja kukosebwa.

Omulamuzi okuyimiriza omusango guno kiddiridde munnamateka Nteza okwekubira enduulu mu kkooti enkulu ng’awakanya emisango egyamuggulwako mu kkooti ento mu maaso g’omulamuzi Fedelis Ottawa, era ng’eno Nteza gye yasooka okuteeka okusaba kwe ng’ayagala omusango guyimirizibwe okutuusa nga ogwasooka okumuggulwako mu kkooti enkulu gumaze okuwulirwa.

Ebiwandiiko bya kkooti biraga nti abaana b’omugenzi Kamya baaguza aba kkampuni ya Interlink Education Services ettaka lyabwe ery’obusika mu 2013 ku bukadde 195.

Munnamateeka Nteza yasanyukidde ensala y’omulamuzi n’agamba nti okuva lwe baamuggulako omusango guno, azze aguwakanya ng’ayita mu mateeka era alumiriza nti waliwo ekigendererwa eky’okumwonoonera erinnya nga bamuggulako omusango ogutaliimu nsa kubanga amateeka galagira nti munnamateeka tavunaanibwa lwa nsobi za muntu gw’awolereza.

Login to begin your journey to our premium content