PAASITA Aloysious Bugingo amaze ebbanga lya myezi mingi ng’alina ebimugulumbya okutuusa lwe yeevuddemu ku Ssande ne yeetikkulako ebimu wakati mu kukulukusa amaziga!
“Olwaleero njagala okutwala omukisa guno obutasigala bweru wa Ggulu, abaana bange bonna mbasonyiye. Doreen Bugingo, Gift Kirabo mbasonyiye nga nkiggya ku ntobo y’omutima gwange.
Winnie Treasure Bugingo nkusonyiye nga nkiggya ku ntobo y’omutima gwange, Jennifer Blessed Bugingo nkusonyiye nga nkiggya ku ntobo ya mutima gwange.
Omuto Isaac Bugingo, tamanyi na bigenda mu maaso era nsaba Mukama ansaasire, bulijjo nsaba omukisa nga ngusabira Isaac Bugingo era nnina ne ppulaani nnyingi nnyo olw’obulomu bwe. Nneewa emirembe mu mutima gwange, mmaze emyaka etaano nga simulabako y’ensonga lwaki mmuteeka mu maaso ga Mukama.
Naye okuva olwaleero nga maze okuggya omugugu ku mutima gwange, abaana bange bonna naabateekanga mu maaso ga Mukama nga nsaba. Sikakiddwa, siwaliriziddwa, ntegeera bulungi. Ndi Mulokole, njagala okugenda mu Ggulu. Otusonyowe ebibi byaffe nga naffe bwe tosinyiwa abatukola obubi.
Njagala okwogera n’abantu abagamba nti, ‘nalemwa okusonyiwa, jangu oyimirire wano mu maaso oba ogakaabira awo gakaabire awo. Njagala mu service eno wabeewo abantu abasonyiwa. Bw’obaayo nga kizibu gy’oli, mujje mugakaabire wano toyingire wiiki yaffe.
If you love the Lord, forgive tonight. My daughters knows (sic - nga bwe yabyogedde) where to find me, I will be the happiness man to seen them to night I have never blocked anyone, they are free to call me any time, the door is open” , bwatyo Bujingo nga yenna amaziga gamuyitamu bwe yeetikkudde ebimu ku bimuli ku mutima ebirudde nga bimugulumbya.
Abali ku luseregere lwa Bugingo baategeezezza Bukedde mu kyama nti, Bugingo amaze emyezi egisoba mu mukaaga ng’alina obulimi ku mutima olw’okubanga yeeraba ng’atali kyakulabirako kituufu ekya taata oba omukulu wa ffamile eri Ekkanisa n’abagoberezi be.
Y’ensonga lwaki mu kwetikkula ekirudde nga kimugulumbya, yagambye nti, emyaka musanvu nga tawuliziganya na baana be abana be yazaala mu mukyalawe ow’empeta Teddy Naluswa, obwo bwe bumu ku bulumi obumugulumbya.
Paasita Bugingo 50, y’akulira Ekkanisa ya House of Prayer Ministries International emanyiddwa nga Canaan Land esangibwa e Makerere Kinoni. Amaka ga Bugingo gaagwamu nnabe mu 2016 n’agoba mukaziwe ow’empeta Teddy Naluswa n’afuna omu ku bawala abakola ku ttivvi ye eya Salt, Suzan Makula eyamwanjula mu 2021 Teddy n’abatwala mu kkooti ng’awakanya obufumbo bwabwe
Okuva Bugingo lwe yayawakanya ne Teddy mu 2016, Bugingo talabanga ku baana baabwe era Teddy yamulumiriza mu kkooti nti n’okubalabirira tabalabirira nga taata, kyokka balooya ba Bugingo bannyonnyola kkooti nti waliwo ebintu ebivaamu ssente Teddy by’addukanya ebisobola okuyimirizaawo ffamire
EBIWALIRIZZA BUGINGO
OKWETONDERA ABAANA
Ensonda mu Kkanisa ya House of Prayer Ministries zaategeezezza nti, ebbanga liweze nga Bugingo alabika tateredde era abamuli ku lusegere baategeezezza Bukedde nti bye yayogedde ku Ssande baabadde babisuubira.
Kigambibwa nti bwe yafuna Suzan, Bugingo yeesunga ebintu bingi ng’omusajja era nga Paasita naye ekiseera bwe kigenze kiyita, Bugingo amaanyi n’essuubi bye yalina bigenze bikendeera era waliwo abamu mu Kkanisa abaategeezezza Bukedde nti ne Suzan okuba nga tabeera mu buli service nakyo Bugingo tekimuyisa bulungi.
Wabula bwe baabadde ne munnamawulire Kasuku eyabasanze mu maka gaabwe, Bugingo ne Suzan Makula baavaayo ku byogerwa nti, baayawukanye ne babiwakanya. Suzan yannyonnyola nti ebyo ebyogerwa kirabika abantu babiggya ku kuba nti yamalako omwezi ogwa December ne January nga talabika nnyo ku kkanisa.
Makula yannyonnyola obutalabika ku kkanisa kyava ku buvunanyizibwa obulala bw'alina okuli n'okubeera nti yalwaza maama we n'amala ebbanga mu ddwaaliro mu kasenge k'abalwadde abayi.
"Abantu bwe batandaba ku katuuti we ntera okutuula nga balowooza nti siriiwo, nina obuvunaanyizibwa bungi mu kkanisa omuli n'okukwanaganya Sunday School noolwekyo mbaayo nnyo nga mbikwanaganya," Makula bwe yategeezezza Kasuku.
EBYA SUZAN OKUZAALA
Ebirala ebigulumya Bugingo kigambibwa nti ekya Makula okuba nga tannamuwa ssanyu lya mwana era abamu balowooza nti olw’ensonga ezo noolwekyo okusonyiwa okuddako kujja eri Naluswa.
Suzan mu mboozi gye baalimu ne Kasuku yayogera ne ku bamupeeka okuzaalira Bugingo n'agamba nti enteekateeka z'okuzaala za bantu basatu, Katonda n'ababiri bennyini abalina okutonda omwana n'agattako nti buli kintu kiba n'ekiseera kyakyo.
Bugingo yategeeza nti Suzan alina okwesunako kubanga ye (Bugingo) eby'abakyala si kye kintu ekimumalamu wadde okumutwalira ebiseera.
Yagamba nti buli kimu omusajja ky’anoonya mu mukazi, Makula akirina okuli amagezi, empisa n’ebirala ate nga abakazi tebalina njawulo we yabuuliza nti ave ku Makula agende n’ani?
Ku olwo ky’atatangazaako kwe kuli ebigambibwa era nti balina obutakkaanya ku by’obuganzi bw’abaana be mu maka amapya era nti ekyo nakyo kibatabula.
Embeera ya Bugingo okusonyiwa abaana be ekulaga nti wandiba nga waliwo abazze babatuuza buli omu gy’ali nga wadde kibadde tekibetagisa kubeera wamu nga bababuulirira ku by’okusonyiwagana.
Abaana ng’abaana bwe bakyusizza mu lulimi ne batuuka n’okulaga nti tebalina buzibu na kitaabwe, kitegeeza okwekuba mu kifuba kubanga mu kusooka ng’ebintu bitabuse mu 2020, omu ku baana abawala yategeeza nti Bugingo abawaayiriza ettaka liri mu mannya ge yekka ekitegeeza nti tebasobola kulitunda ng’ate tebalinaako mannya gaabwe wadde mu kuligula baalinako ssente zaabwe ng’abantu abalala bwe baakola nga balisonda.
ABAANA BATADDEWO
OBUKWAKKULIZO
Bukedde yakoze kaweefube okunoonya ku Teddy n’abaana okwogera kyokka baagaanyi naye omu ku babali ku lusegere yagambye nti balinze Bugingo okukwata essimu abakubire oba yeesitule agende gye bali , eby’okubasonyiwa ebibabuulire maaso ku maaso
Gye buvubuddeko, Doreen bwe yabadde ayogera ku mukolo gw’amatikkira yayogera bulungi eri kitaabwe n’agamba ebyaliwo byabanyiga naye tebikyabanyiiza.
“Taata yansabira n’okwagala nsome diguli eyookubiri era n’akituukiriza wadde nga tabadde ku mukolo. Ebyaliwo bwe biba byaliwo, tewali muntu atuukiridde noolwekyo ekiseera bwe kinaaba kituuse tujja kutabagana ne taata.” Doreen bwe yayogedde ng’atikkiddwa.
Kino nakyo kitegeeza nti abaana okusooka okulaga bwe batalina buzibu na Bugingo nga bwe kyali mu kusooka, kitegeeza ye yabadde asigalidde okukyatula bw’atalina buzibu nabo.
Ekibuuzo ekisigala era nga n’ensonda mu maka ga Bugingo amakulu e Kitende zaategeezezza nti, gakyebuuza nti, Bugingo asonyiwa abaana naye baamukola ki okuli ne Isaac atannaweza myaka 10. Ensonda era zigamba nti, okusonyiwa kuno baawulidde kuwulire, tebannakutegeezebwa kuva ku ye mu butongole.
BUGINGO BY’AZZE
AYOGERA EBIBUZAABUZA
l Nga 28 Febraury 2023 yali ayogera ne bannamawulire mu maka g’e Namayumba nga bingi ebitambula nti yalina omukyala omulala alina n’olubuto era nti yayawukana ne Makula.
l Mu kadde ke kamu waaliwo akatambi akaali katambula nga Bugingo alina bye yali ayogerako nga biraga omuntu eyalina omukyala n’ayawukana naye kyokka ne gwe yazza mu bigere bye ate nga naye asobya ng’oli eyasooka kwe kugamba nga n’ono aliwo naye yeetaaga kugoba ng’oli eyasooka.
l Bugingo ng’ayogera n’omukutu gwa Kasuku live ku olwo, yategeeza nti talina buzibu na Makula era bakyali bombi nti biri byali bibungeesebwa bubungeesebwa.