Tukulaze ebiwalirizza Nsikonnene eyawasizza abakazi 7 okugaana okugaba ebiyungu. Tukugattiddeko n’abakugu bwe bamulabudde ku lusozi lw’ayolekedde.
Omusawo wa Pulezidenti Putin owa Russia bamukutte nga America emutolosa.
Tusubwa ebyabadde mu lukung’aana lwa Bobi Wine e Hoima.
Mulimu ebiwuniikiriza Bp. Luwalira by’ayiseemu bw’abadde alombojja emyaka 14 gy’amaze ng’aweereza e Namirembe.
Mu Ssenga: Tusobwa abakugu nga bawabula abasajja ku bye balina okukola okusobola okusamba 90 mu kisenge. Tukugattiddeko n’omuko gw’abanoonya ababeezi, Sandra n’emboozi z’omu kisenge ennyuvu.
Mu Byemizannyo: Tukulaze engeri omuzannyi wa ManU eyitibwa Antony ebintu by’abakazi bwe byongera okumubijjira buli olukya.
Gano n’amalala mu Bukedde w’Olwokubiri agula 1,000/- zokka.