BUKEDDE WA MMANDE AKULEETEDDE EBIKULU BINO KEERA OMWEKWATE
Mulimu omukyala omusuubuzi abadde yaakava ku kyeyo gwe basse mu ntiisa. Abatemu bamuggye ku dduuka lye ne bamusanjaga ebiso.
Tosubwa olukalala lw’amasomero agasinze okukola obulungi mu bigezo bye PLE.
Omubaka Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu nga beegattiddwako Bobi Wine balaze sitayiro nga bajaguza.
Poliisi etaayizza akabinja k’ababbira ku bodaboda. Bano basooka kukutomera era basinga kuteega abava mu bbanka n’abasuubuzi.
Omuzadde alina omuyizi mu P3, P4, P5, P6 ne P7 tosubwa Free Holiday Package ayamba omwana okutandika ttaamu nga mumanyi.
Mu Byemizannyo: Tukulaze ebiwalirizza Klopp okuva mu Liverpool. Tukugattiddeko vvaawompitewo ali mu gya AFCON nga Nigeria ne Senegal ziwaga.
Gano n'amalala mu Bukedde wa Mmande alimu Enkumbi terimba ng’agula 1,000/- zokka.