Amawulire

Ebitongole bya Gavumenti bisabiddwa okukolera awamu ku lw'enkulaakulana

Omumyuka wa ssentebe w'akakiiko akalondoola embeera z'abakulembeze aka Leadership Code Tribunal, Asuman Kiyingi asabye ebitongole bya Gavumenti byonna okukolera awamu okutuusa obuweereza ku muntu wa wansi.

Ebitongole bya Gavumenti bisabiddwa okukolera awamu ku lw'enkulaakulana
By: James Magala, Journalists @New Vision

Bya James Magala

Omumyuka wa ssentebe w'akakiiko akalondoola embeera z'abakulembeze aka Leadership Code Tribunal, Asuman Kiyingi asabye ebitongole bya Gavumenti byonna okukolera awamu okutuusa obuweereza ku muntu wa wansi.

Kiyingi agambye nti buvunaanyizibwa bwa bakulembeze abali mu bitongole bya Gavumenti ebitali bimu okukolera awamu okukakasa nti abantu ba bulijjo bafuna obuweereza obwetaagisa omuli: amasomero, enguudo, amalwaliro agali ku mutindo n'ebirala.

Agambye nti ebizibu ebimu ebiriwo mu ggwanga  bivudde ku bitongole ebimu ebitakoze mulimu gwabyo.

Ategeezezza nti Uganda efiirwa ssente nnyingi mu buli bw'enguzi kyokka nga ssente nnyingi ezisaasaanyizibwa okugirwanyisa n'asaba ebitongole byonna okugatta amaanyi okulwanyisa enguzi kubanga ekoze kinene nnyo okuzza eggwanga emabega.

Kiyingi yeeyamye nti ng’akakiiko akalondoola enneeyisa y'abakulembeze baakukola kyonna ekisoboka okulaba nga beeyisa mu ngeri esaanidde awatali kukozesa bubi ssente za muwi wa musolo. 

Tags:
Gavumenti