Amawulire

Rose Namayanja akubirizza abakyala okwenyigira mu program za Gavmenti ez'okubaggya mu bwavu

Rose Namayanja akubirizza abakyala okwenyigira mu program za Gavmenti ez'okubaggya mu bwavu 

Abakyala ba NRM nga bali mu nsisinkano
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Racvheal Nankya

AMYUKA ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja asabye abakulembeze ba bakyala ku mitendera egy’enjawulo okulonadoola pulogulaamu za Gavumenti zona abakyala bebakulembera baleme kuviiramu awo

Bino yabyogedde ku Lw'okussatu bweyabadde ku kitebe kya NRM e Kyadondo mu lukungaana lw’abakyala ba NRM mu Buganda n'abasaba okutuukiriza obuweereza bwabwe nga bakwatagana ne ba ssentebe okulaba nga abakyala bamanya pulogulaamu ezigenda okuleetebwa mu distulikiti zaabwe nga PDM kubanga bbo nga abakyala Gavumenti yabawa ebitundu 30% ku ssente za PDM

Namayanja akubirizza abakulembeze bamanye emiruka gyebalina basobole okulondoola emiruka buli mwaka era bbo nga abakulembeze bwebanatuusa obubaka buno mu bantu bebakulembera kija kubayamba okuwangula akalulu akaddako kubanga era enteekateeka ya PDM yeyabayamba okuwangula akalulu k’ekisanja kino

Ono asiimye akulira ekiwayi kya bakyala banna NRM mu Buganda Adrine Kobusingye okukubiriza abakyala okwekulakulanya nga begatta mu sacco ya Maama Uganda Empowerment Cooperative Society Ltd naye mwafuuse memba nabasuubiza okuteeka obukade 20 mu sacco eno ey’abakyala ba Buganda

Rose Namayanja ng'ayogera

Rose Namayanja ng'ayogera



Ono akubiriza abakyala okumanya nti obukulembeze si bukugu wabula omulimu kubanga naye bwoba omubuuziza kyakola akulembeza kya bulimi nazaako eky’obukulembeze nga balina okubeera  eky’okulabirako er abakyala nga bakola emirala baleme kutunuulira bya bufuzi byoka

Asiimye abakyala okunonyeza Museveni akalulu mu Uganda yona ate nga nekumulundi guno baakoze bulungi mu Buganda okusinga ku kalulu akayise

Hon. Juma Kisekka Witonze ayagala okuvuganya ku bwa memba wa palamenti ya East Africa agamba ekimuleese mu bakyala bano bakoze omulimu ogwa maanyi era nga bali mu bifo by’obuvunanyizibwa nebakola bulungi era abo ge mafuta agatambuza ensi Uganda

Ono ategeezeza nti omulimu gw’omukulembeze kumalawo bizibu bya bantu era agenda kukwata ku bizibu byaabwe kubanga aze abikola nga akyali mumyuka wa ssentebe wa NRM e Gomba nebwanagenda mu palamenti ya East Africa wakusigala nga aweereza okumalawo ebizibu bya bannayuganda era wakuwanika bendera waggulu

Abakyala bamusembye okugenda mu palamenti nebamusabira emikisa okubeera omuwanguzi mu lugendo lwe
Tags: