Ebbugumu lyeyongedde mu mbaga ya Kyabazinga

ENTEEKATEEKA z’embaga ya Kyabazinga zeeyongeddemu ebbugumu mu bitundu bya Busoga.

Abantu nga bazimba ekimu ku biyitirirwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENTEEKATEEKA z’embaga ya Kyabazinga zeeyongeddemu ebbugumu mu bitundu bya Busoga.
Enguudo ezisinga zizimbiddwaako ebiyitirirwa nga beetegekera embaga eno eyookubaawo ku Lwomukaaga luno e Bugembe. Ku Lutikko y’Abakrisitaayo e Bugembe abagole we bagenda okugattibwa baatandise okugiyooyootawo era Katuukiro wa Busoga Muvawala Nsekera yafunye obudde eggulo n’alambula ekifo.
Kkwaaya eneeyimba ku mbaga yasangiddwa ewawula amaloboozi era erimu abayimbi 100 nga mulimu abaavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era bamaze omwezi mulamba nga beegezaamu.
Katuukiro yategeezezza nti abantu 2,000 be bayitiddwa nga pulezidenti Museveni ye mugenyi wa Kyabazinga ow’enjawulo gwe yayise.
Emikolo gyonna gijja kulagibwa butereevu ku ttivvi za Vision Group zonna noolwekyo abataasobole kutuuka mu kifo we giri bajja gugyota buliro.
Mu Lubiri Kyabazinga gy’agenda okusemberereza abagenyi nayo wayooyooteddwa era paakingi y’emmotoka ezisoba mu 2,000 yamaze okutereezebwa.
GYE BAZAALA INHEBANTU BEEBUGA
Ku kyalo Mulumba Kyadondo mudisitulikiti ye Mayuge gye bazaala Jovia Mutesi alinze okufuuka Inhebantu abaayo nabo beejagaBaazimbye ebiyitirirwa okuva ku kkubo erigenda ewa bazadde ba Mutesi, Stanley ne Rebecca Bayole.
Kitaawe wa Mutesi ye ssentebe w’ekitundu era ng’abumazeeko emyaka 25 ate era ye RDC w’e Bulambuli mu Bugisu.
Bayole yagambye nti, muwala we ye muggulanda era yamusomesa e Metozolie Nursery gye yava n’agenda ku Shimon Demonstration School. Bwe bagiggyaawo n’amuzza ku Kampala Parents gye yatuulira P7. Yeegatta ku Mount St. Mary’s College Namagunga gye yamalira S4 ne S6 olwo ne yeegatta ku yunivasite ye Nkozi gye yafunira diguli esooka mu kubala ebitabo. Yasoma ddiguli ey’okubiri e Makerere yunivasite era nga nayo eri mu kubala bitabo.
Jjajja wa Mutesi Edisa Nabirye Mwanga yakaabye olw’essanyu ng’ayogera ku muzzukulu we n’agamba nti abadde tamala bbanga nga tamulambuddeeko