E Kasangati kkansala atutte banne ku poliisi lwa kumuvvoola ku whatsApp

Bakkansala ku lukiiko olukulu olwa Kasangati Town Council bavudde mu mbeera ensonga za Kkanso ne bazizza ku mutimbagano ate nayo ne bayomberayo nga munnaabwe abalumiriza okumuvvoola n’okumuwemula.

E Kasangati kkansala atutte banne ku poliisi lwa kumuvvoola ku whatsApp
By Samuel Tebuseeke
Journalists @New Vision
#Kasangati #bakansala

Bya Samuel Tebuseeke

Bakkansala ku lukiiko olukulu olwa Kasangati Town Council bavudde mu mbeera ensonga za Kkanso ne bazizza ku mutimbagano ate nayo ne bayomberayo nga munnaabwe abalumiriza okumuvvoola n’okumuwemula.

Bano nga bayita ku mukutu gwa Kasangati Town Council ogwa WhatsApp ogwebatuuma KTC 2021-26 ogubagatta nga bakansala, ensonga eyabatabudde yabadde ya misolo emipya egya boodabooda ne takisi aba kasangati Town Council gwe bateekateeka okuleeta wamu n’amateeka agafuga aba booda ne takisi mu Kasangati.

Okusinziira ku bubaka bwe twalabye ku mukutu guno ogwa WhatsApp bakansala basoose kuteesa bulungi wabula gye byakidde nga bakansala okuli Waziri Abuddala Akimu (NUP) akiikirira omuluka gw’e Bulamu ne Kansala Male Shafic(NUP) akiikirira omuluka gwa Kiwalimu-Wampeewo batandisa okuwanyisigannya ebigambo ne kkansala Namugambe Angel (NUP) akiikirira Wattuba.

Kansala Waziiri ne Male obwedda balumiriza kansala Namugambe nti alina omukono mu musolo ogugenda okuleetebwa gwe bagamba nti gugenda kunyigiriza abantu, Namugambe yategeeza nti bakansala bano bavudde mu kuteesa, bamwogeddeko kalebule era mbu ne bamuwemula wamu n’okumwagaza abasajja ab’enjawulo ku mulimu gy’akolera wamu ne ku kkanso.

Namugambe yategeeza nti byonna ebyamwogeddwaako kalebule yennyini era bamuwebudde mu bantube abali ku mukutu guno gwa WhatsApp nga kati bitandise n’okusaasana mu balonzi be nti alya enguzi ku kkanso, kwe kusalawo okuddukira ku poliisi bakansala banne n’abaggulako omusango gw’okumwogerako kalebule era nga gugenda kutuulirwaamu ku Lwokutaano luno ku poliisi e Kasangati.

Kansala Waziiri ne Male bategeeza nti kituufu ekipapula bakifunnye naye ebiboogerwako byona bifu bagezaako kubatiisatiisa bave ku musolo aba Town Council gwe baagala okuleeta bo gwe bagamba nti gugenda ku nyigiriza bantu b’e Kasangati era tebagenda kugukkiriza kuyita mu kanso eddako.