Abayizi 298 babanguddwa mu misomo gya Tekinologiya

ABAVUBUKA 298 batikiddwa oluvannyuma lw'okukuguka mu bya tekinologiya wansi wenteekateeka y'okubangula abavubuka ne kigendererwa kyokulwanyisa ebbula lyemirimu. 

Abatikkiddwa nga basala cake
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

ABAVUBUKA 298 batikiddwa oluvannyuma lw'okukuguka mu bya tekinologiya wansi wenteekateeka y'okubangula abavubuka ne kigendererwa kyokulwanyisa ebbula lyemirimu. 
Enteekateeka eno yawomebwamu omutwe kkampuni y'ebyempuliziganya eya MTN wamu ne ministry ya ICT nga abawala 248 n'abalenzi 50 bebaganyuddwa mu nteekateeka yomwaka guno.

Abatikkiddwa nga balaga amabaluwa gaabwe

Abatikkiddwa nga balaga amabaluwa gaabwe

Amasomo amalala mwebakuguse mulimu ebyamasannyalaze, ebyamazzi n'okutunga. Eno yemu ku nteekateeka za MTN ez'okubangula abavubuka okufuna obukugu mu mirimu egyemikono abasinga obungi mu Uganda.....
Okuva mu mwaka gwa 2019 abavubuka abasoba mu 1,100 bebaze batendekebwa mu bya computer ate nga abalala 116 babanguddwa mu bya mikono.
Omukolo gwokutikkira gukoleddwa Maria Lubega amyuka RDC we kasangati nga atenderezza obuyiiya  bwa MTN obugendereddwamu okuggya abavubuka mu bwavu.