Bya Dickson Kulumba
ABADDE minisita w’ekikula ky’abantu e Mmengo, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma awaddeyo ofiisi eri Cotlida Nakate Kikomeko amuddidde mu bigere.
Nga tannamukwasa ofiisi, baasoose kwevumba kafubo nga Dr. Nankindu amuyitiramu ebyo by’alese mu ofiisi. Omukolo gwabaddewo ku Mmande nga gwetabiddwaako abakulira ebitongole mu minisitule eno.
Dr. Nankindu yeebazizza Kabaka olw’omukisa gwe yamuwa okuweereza n’agamba nti aweerezza n’essanyu. “Emirimu gibadde ginyuma era gibadde mirungi. Oweekitiibwa Nakate ono Munnabusujju munnange era Kasujju musanyufu nti tutambuza ebyenjigiriza nga Bannabusujju ate abakyala,” Dr. Nankindu bwe yategeezezza.
Dr. Nankindu musomesa w’abasomesa era omunoonyereza ku yunivasite e Kyambogo. Yasooka kuweereza nga Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza, oluvannyuma n’afuulibwa minisita avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu ne ofiisi ya Nnaabagereka.
Minisita Nakate yeebazizza Dr. Nankindu olw’okumusitula ng’amuwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu nkola y’emirimu nga yasooka kumulonda nga ssentebe w’olukiiko lw’ebyenjigiriza mu Buganda ate emabegako n’alondebwa okukuliramu akakiiko k’Obwakabaka akaakuhhaanyizza ebirowoozo ku ngeri ebyenjigiriza gye biyinza okukyusibwamu.