Amawulire

Buganda ennyinyitizza olutalo ku mukenenya mu Ssaza ly’e Ssese

Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole ky’ebyobulamu bunnyinnyitizza olutalo ku mukenenya mu Ssaza ly’e Ssese nga buyita mu nteekateeka ez’enjawulo.

Buganda ennyinyitizza olutalo ku mukenenya mu Ssaza ly’e Ssese
By: Samuel Nkuba, Journalists @New Vision

Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole ky’ebyobulamu bunnyinnyitizza olutalo ku mukenenya mu Ssaza ly’e Ssese nga buyita mu nteekateeka ez’enjawulo.

Olutalo luno lweyolekedde mu nteekateeka ya ttabamiruka w’abakyala bonna mu Buganda wamu n’okukuza olunaku lw’abakyala nga bino byonna bitegekeddwa mu Ssaza lino.

Minisita Nankindu Nga Ayogerako Eri Abantu Mu Ggombolola Ya Ssaabaddu Mugoye.

Minisita Nankindu Nga Ayogerako Eri Abantu Mu Ggombolola Ya Ssaabaddu Mugoye.

Bwe yabadde aggulawo ebikujjuko by’olunaku luno, ku Lwokusatu, minisita avunaanyizibwa ku byobulamu n’ebyenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yategeezezza nti baagala Kalangala eve mu kifo kyerimu ekisooka mu kubeera n’abantu abawangaala n’akawuka.

“Tusaba abaami abalina omuze ogwokya eddagala ly’abakyala n’okulikweka okukikomya bunnambiro bwe tuba baakulwanyisa kawuka kano okukendeera mu bantu baffe ab’e Kalangala,” Minisita Nankindu bwayongeddeko.

 

Minisita agamba nti enteekateka endala nnyingi ze bakyaleeta naddala e Ssese wamu n’emisomo ku by’obulamu n’ekigendererwa ekyokukyuusa endowooza z’abantu baffe.

Abantu mu ggombolola eno eye Ssaabaddu Mugoye ewatongozeddwa ebikujjuko bino baaweereddwa obujjanjabi obwobwerere omubadde n’okubakebera omusaayi gw’akawuka ka mukenenya, okugaba omusaayi kwossa okuweebwa eddagala ku ndwadde eziba zibazuuliddwaamu.

Josephine Nakajjugo okuva mu Uganda Cares ategeezezza nti baatandika n’abantu 412 mu mwaka gwa 2015 kyokka kati balina 1075 nga kuliko abaami 508, abakyala 567 n’abaana 60. 

Ate olunaku lw’abakyala lukuziddwa olwaleero ku Lwokuna n’omulamwa ogwokukozesa tekinoligiya mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya n’obusambattuko mu maka.

Tags: