Abantu abatamira bulunji ddagala lyabwe mu bizinga banokoddwayo nga abaleetedde akawuka akaleeta mukenenya okweyongera mu bizinga ssaako abasajja abatakkiriza bakyala baabwe kulimira ne bafundikira nga balyokyezza.
Abamu Ku Bantu Abeetabye Mu Kuggulawo Ebijaguzo E Mugoya.
Bino byogeddwa omusawo abudaabuda abantu abawangaala n’akawuka okuva mu Uganda Cares Josephine Nakajjugo mu kutongoza ebikujjuko ebikulembeddemu okujaguza olunaku lwa bakyala mu Buganda olugenda okukuzibwa mu bizinga leero ku Lwokutaano.
Ebikujjuko bino bitongozeddwa mu ggombolola ya Ssaabaddu Mugoye e Kalangala era bitongozeddwa minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu n’ebyenjigiriza mu bwakabaka bwa Buganda Owek. Dr. prosperous Nankindu Kavuma.
Nakajjugo Owa Uganda Cares Ng'ayogera.
Nakajjugo agamba nti abasajja abamu bazibikiriza bakyala baabwe nga tebabakiriza kugenda kufuna ddagala lyaabwe kyokka olulifuna olwo abasajja nga balyoka saako okulisuula.
“Twatandika n’abantu 412 mu mwaka gwa 2015 era kati tulina abantu 1075 era ku bano kuliko abaami 508, abakyala 567 ate abaana 60. Wabula wadde nga banji bamira bulunji eddagala, kuliko 64 abakyalemeddwa okumira obulungi eddagala lyabwe,” Nakajugo bwe yayongeddeko.
Omuwendo guno guli mu ggombolola emu yokka ey’e Mugoye wabula disitulikiti y’e Kalangala ekolebwa amagombolola musanvu.
Minisita Nankindu Ng'ayogerako Eri Abantu Mu Ggombolola Ya Ssaabaddu Mugoye.
Dr. Prosperous Nankindu Kavuma asinzidde eno n’ategeeza nga bwe bali ku kaweefube ow’okulaba nga Kalangala eva mu kifo ekisooka naddala mu kubeera n’akawuka akaleeta mukenenya.
“Abasajja tubasaba mukomewo tulwane tulabe nga mukenenya afuuka olufumo era mukomye okutya naddala ku lutalo luno lwe tuliko,” Minisita Nankindu bwe yayongeddeko.
Eno era waabaddeyo olusiisira lw’ebyobulamu era abantu ab’enjawulo baafunye eddagala ku ndwadde ezibakebereddwa ssaako okuwaayo omusaayi. Olunaku lwakukuzibwa leero era lwakubeerako ne ttabamiruka wa bakyala mu Buganda.