Minisita wa Buganda ow'ebyamawulire omuggya akwasiddwa ofiisi

MINISITA omuggya ow'amawulire, okukunga abantu era omwogezi w'Obwakabaka bwa Buganda, Israel Kazibwe Kitooke akwasiddwa ofiisi okutandika okukakkalabya egy'amukwasiddwa Kabaka.

Israel Kazibwe Kitooke ng'akwasibwa File okuva eri abadde omwogezi w'obwa Kabaka Nooh Kiyimba
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

MINISITA omuggya ow'amawulire, okukunga abantu era omwogezi w'Obwakabaka bwa Buganda, Israel Kazibwe Kitooke akwasiddwa ofiisi okutandika okukakkalabya egy'amukwasiddwa Kabaka.

Noah Kiyimba nga y'abadde Minisita w'Amawulire era Omwogezi w'Obwakabaka y'amukwasizza ofiisi e Bulange-Mmengo leero nga 8 August ,2023.
Mu nkyukakyuka ezaakoleddwa Kabaka nga August 1,2023,Kiyimba yamukwasizza Minisitule ya Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n'okuvunanyizibwa guno na guli mu ofiisi ya Katikkiro wa Buganda.

Ow'okitiibwa Nooh Kiyimba Kiyimba eyabadde omwogezi w'obwakaba ng'awaayo ofiisi

Ow'okitiibwa Nooh Kiyimba Kiyimba eyabadde omwogezi w'obwakaba ng'awaayo ofiisi


Mu kwogera kwe, Kazibwe alaze essanyu n'okwenyumiriza olwa Kabaka okumulondobayo mu bangi n'amuwa obwami buno.
"Omulimu omukulu oguliwo, Ssabasajja atwagaza twongere okukunga abantu ba Buganda gyebali yonna eyo mu butale, Bodaboda, abavubuka, abakadde n'ebiti ebirala okwenyigira mu mirimu gy'okukulakulanya Obwakabaka bwaabwe," Kazibwe bweyategezezza.

Ate mu kkoowe ky'amawulire, Kazibwe yeyamye okwongera okuteeka amaanyi ku mitimbagano okuyizizaako buli nteekateeka y'Obwakabaka nga kino agamba kyakuggyawo ababungeesa ebigambo ebitaliiko mutwe na magulu, nga byolekezebwa n'okukongera Obwakabaka.

"Ntegeeza abantu ba Kabaka yonna gyebali nti baakwongera okutuusibwako amawulire gonna ageebyo ebigenda mu maaso mu Bwakabaka. Baleme kugobereranga abo abateeka obubaka obutavudde mbuga ku mitimbagano olw'okuba alina essimu n'agikozesa kyonna kyasanze," Kazibwe bweyayongeddeko. 

Nga tanakwasa Kazibwe ofiisi mu butongole, Kiyimba yebazizza Kabaka olw'obwesige bwazze ateeka mu Bannankobazambogo kubanga minisitule eno yasiima nagimukwasa bwatyo n'abeera Munnankobazambogo okubeera Minisita omujjuvu okugibeeramu.
Kiyimba era yalaze essanyu nti ofiisi eno era ekwasiddwa Kazibwe nga naye Munnankobazambogo.
" Bwentyo ntuusa okusomooza eri Bannankobazambogo yonna gyebali okutwala obuvunanyizibwa bwonna obubeera bubaweereddwa ng'ekikulu kubanga mweekyo ate mwoyitira okufuna obuvunanyizibwa obulala," Kiyimba bweyategezezza.

Kiyimba eyafuuka Minisita w'Amawulire mu 2017 yayanjulidde Minisita Kazibwe ebitongole eby'enjawulo ebiri mu minisitule eno n'abakungu abaabaddewo n'amukuutira okugenda mu maaso n'okutegekanga akabaga ka Bannamawulire aka buli mwaka.

Minisita Kiyimba yeebazizza Bannamawulire olw'enkolagana ennungi gyebamulaze era n'asaba omukwano guno bagulage ne Minisita omuggya.
Okukyusa ofiisi kukyagenda mu maaso eri Baminisita abawumuzibwa naabo abaafuna ofiisi empya ezaatondeddwawo.

Ku lwa Mmande Dr. Prosperous Nankindu Kavuma abadde Minisita w'enkulakulana y'abantu ba Buganda yawaddeyo ofiisi eri eyamuddidde mu bigere,Cotlida Nakate Kikomeko.

Eggulo era Hajj Amisi Kakomo abadde akuuma Minisitule g'ebyobuwangwa,ennono,obulambuzi,Oluganda n'ebyokwerinda oluvanyuma lw'okusiima kwa Kabaka eyali Minisita w'ensonga ezo David Kyewalabye Male awummule, yakwasizza Minisita omuggya Dr. Anthony Wamala ofiisi ate ku Lwokuna abadde Minisita w'abavubuka, emizannyo n'okwewummuza, Henry Ssekabembe Kiberu wakuwaayo ofiisi eri eyamuddidde mu bigere, Ssaalongo Robert Sserwanga