Dominiscan Republic: Batandise okuziika emirambo 220 egy'abaafiiridde mu kiraabu

KUKUNGUBAGA n'ebiwoobe be baana baliwo mu nsi ya Dominican Republic oluvannyuma lw'okukakasa nti abantu 220 be baafiiridde mu njega ya bbaala eyagudde n'ebuutikira abadigize abaabadde 'basuze mu nagtto'.

Dominiscan Republic: Batandise okuziika emirambo 220 egy'abaafiiridde mu kiraabu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
KUKUNGUBAGA n'ebiwoobe be baana baliwo mu nsi ya Dominican Republic oluvannyuma lw'okukakasa nti abantu 220 be baafiiridde mu njega ya bbaala eyagudde n'ebuutikira abadigize abaabadde 'basuze mu nagtto'.
 
Kiraabu eno eyitibwa Jet Set nightclub esangibwa mu kibuga ekikulu Santo Domingo yagwamu mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri lwa wiiki eno olwo ebitongole ebidduukirize ne bitandika okutaakiriza ababadde bakyali abalamu n'okukukunula emirambo okuva mu bifunfugu n'emitayimbwa.
 
Omukutu gwa AFP gwategeezezza nti abantu abali wakati wa 500 ne 1,000 be baabadde mu kiraabu eno ku kivvulu ky'omuyimbi omututumufu Rubby Perez. Perez 69, eyabadde ku siteegi ekizimbe we kyagwiridde naye yafiiriddewo kyokka muwala we ye yasimattuse n'ebisago eby'amaanyi.
 
Akulira ekitongole ekidduukirize mu nsi eno, Juan Manuel Mendez yagambye nti abantu  abasoba mu 500 be baanunuddwa nga bali mu malwaliro gye bajjanjabwa n'ebisago ey'amaanyi n'ategeeza nti oluvannyuma lw'akabanga bajja kufulumya lipooti erimu ebyenkomeredde.
 
Pulezidenti w'ensi eno Luis Abinader yasinzidde mu kusabira omwoyo gw'omuyimbi Perez okwabadde ku National Theater yaayo n'asaasira bannansi bonna olw'okufiirwa kuno.
Abamu ku bantu abaafudde kuliko bannansi ba Haiti, munnansi wa Italy, Abafalansa babiri (2) n'Omumerica omu.