ABAGAMBIBWA okuba ababbi b'ente 11 bakwatiddwa e Karamoja ne bazuula n'ente 93 ezigambibwa okuba enzibe wamu n'emmundu bbiri.
Mu ngeri y'emu era ebidomola bya waragi 455, byazuuliddwa mu kikwekweto ekigenda mu maaso mu kitundu ekyo, okulwanyisa obubbi bw'ente n'obumenyi bw'amateeka obulala. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti , waliwo n'embuzi eziwerako ezazuuliddwa mu kikwekweto kino.