ABAGAMBIBWA okuba ababbi b'ebijambiya basatu ,bakubiddwa amasasi agabasse oluvannyuma lw'okubba ssente ku mukozi wa mobile money e Lungujja Rubaga mu Kampala.
Kyadiridde abagambibwa okuba ababbi ab'ebijambiya, okufumbikiriza omukozi ono ku dduuka e Lungujja ne bamunyaga nga beyambisa ebiso nti kyokka mu kulaajana, abasirikale baasobodde okumuduukirira ne bakuba amasasi mu bbanga, ababbi ne badduka ku ssaawa nga bbiri ez'ekiro.
Kigambibwa nti ababbi bano, abaabadde batambulira ku pikipiki, babagobye okutuuka e Mengo okumpi ne Stabex era nga wano, mu kanyoolagano babiri baakubiddwa amasasi agaabattiddewo ate omulala owokusatu n'afa ng'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti , poliisi yazudde pikipiki bbiri okuli etaliiko nnamba n'endala nnamba UGE 294 X , ekisawo omwabadde ssente obukadde 8 , ssimu bbiri ezaabadde zibbiddwa n'endagamuntu.
Ayongeddeko nti okunoonyereza kugenda mu maaso , okuzuula abalala, abali emabega w'ekibinja kino.