District Khadi bamusomedde ogwa kalebule

AMYUKA disitulikiti Khadhi w'Abasiramu mu Iganga asindikiddwa ku meere e Luzira ku bigambibwa nti yalebula abakyala nga abayita bamalaaya. 

Uthuman Shaban Ngobi ng'ali mu kaguli ka kkooti
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
AMYUKA disitulikiti Khadhi w'Abasiramu mu Iganga asindikiddwa ku meere e Luzira ku bigambibwa nti yalebula abakyala nga abayita bamalaaya. 
 
 Uthuman Shaban Ngobi 39 amyuka disitulikiti Khadhi we Iganga omutuuze we Luuka mu munisipaali ye Iganga mu disitulikiti ye Iganga yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ya Buganda road Ronald Kayizzi amusomedde emisango 4 gyonna n'agyegaana. 
 
Kigambibwa nti mu mwezi gwa April 2025 ku luguudo lwa George Street mu Kampala wamu ne bitundu  bye Iganga, Ngobi yasaasanya omubaka obusiga obyayi nga akozesa enyuma bi kalimagezi ku Mukyala ayitibwa Ahmed Shifah ne bagandanda be batta Taata wabwe kati omugenzi Ahmed Salimin. 
 
Kuno yagattako okubalebula nga abayita ba malaaya ne maama waabwe,abasamize wamu n'okutta taata waabwe  ekikolwa ekyatattana ekitiibwa kyabwe nga abakyala. 
 
Emisango emirala kigambibwa nti Ngobi yasindika obubaka obusiga obukyayi nga akozesa kompyuta wamu n'emikutu egyenjawulo okuli Ticktock n'ategeeza nti Shifah ne bagenda be benyigira mu kutta taata wabwe era nti ne maama waabwe yetunda ate alina akawuka kamukenenya. 
 
Emisango gyonna yagyegaanye era omuwaabi wa gavumenti mu musango guno Ivan Kyazze yategezezza kkooti nga okunonyereza bwekuwedde n'asaba kkooti okubawa olunaku okutandika okuguwulira kuba babadde nazze beteseteese okuwa obujulizi naye oludda oluvunaanibwa babadde teebaaluwadde mpaaba ya kkooti kwebagenda kusinsinziira kuwa bujulizi. 
 
Sylvia Namawejje Epitu nga ono ye munnamateeka wa Ngobi asabye kkooti omuntu waabwe yeyimirirwe era yayanjulidde kkooti abantu bana okubadde Abasirikale Sulaiman Ssenkayi, Ngobi Sulaiman n'abalala era nga bonna mikwano gye. 
 
Omuwaabi wa gavumenti yawakanyizza ekya Ngobi okusaba okweyimirirwa kuba nga tebaanjudde kifo kituufu gyabeera kuba ku mpaaba ya kkooti eraga omutuuze we Iganga ate nga munnamateeka we yategezezza nti mutuuze we Kisaasi ku kyalo Kikulu  Kukaaba mu munisipaali ye Kawempe mu disitulikiti ye Kampala. 
 
Awo weyasabidde kkooti ebawe yo obudde okwekebejja ebiwandiiko ebireteddwa mu kkooti ebya bamweyimiridde wamu nebya Ngobi okuzuula ekifo ekituufu gyabeera. 
 
Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga June 24,2025 okuddamu okusaba kwenjuyi zoomb