Byanyima amukyalidde mu kkomera, bamuleeta leero mu kkooti

KKOOTI ewulira leero okusaba kw’okuyimbula Dr. Kiiza Besigye okwatwalibwayo balooya be nga bagisaba eragire Gavumenti okumuyimbula nga mulamu oba mufu.

Byanyima
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KKOOTI ewulira leero okusaba kw’okuyimbula Dr. Kiiza Besigye okwatwalibwayo balooya be nga bagisaba eragire Gavumenti okumuyimbula nga mulamu oba mufu.
Okusaba kuno kkooti yali yateekawo Olwokubiri lwa wiiki ejja okukuwulira, kyokka olw’embeera eteereddwaawo abantu ababadde babanja kuyimbulwa kwa Besigye,
yasazeewo ekuwulire leero, okukkakkanya ku puleesa.
Amawulire gano gaaleeteddwa minisita w’ebyamateeka Nobert Mao mu Palamenti, oluvannyuma lw’okusindikibwa Sipiika agende mu kkooti aleete lipoot u kye baliko ku by’okuyimbula Besigye.
Mao yagenze n’omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti ackson Kafuuzi, ne
minisita omubeezi ow’ensonga ez’omunda mu ggwanga, Gen. David Muhoozi. Palamenti yateeka Mao ku nninga annyonnyole lwaki Besigye ali mu mbeera gy’alimu nga bamukolako obutali bwenkanya.
Ne Sipiika Anita Among yakangudde ku ddoboozi, n’ajjukiza ababaka nti Besigye ky’alimu nabo enkya basobola okukibeeramu nga kya makulu okulwanirira eddembe lye nga tebatunuulidde bibiina mwe bava.
Sipiika okuva mu mbeera kyaddiridde Mao okugamba nti balooya ba Dr. Besigye
bakoze kinene okumulemeza mu kkomera, kuba mu kifo ky’okukola ebituufu,  baasazeewo kuzannya byabufuzi.
BYANYIMA AmuKY ALIDDE
Mukyala wa Dr. Besigye, Winnie Byanyima yakyalidde ku bba mu kkomera e Luzira, n’agamba nti embeera gy’amusanzeemu ekaabya. Oluvanyuma  lw’okumulabako, Byanyima yayise ku mukutu gwe ogwa X n’agamba nti yamusanze mugonvu nnyo, alina kamunguluze ow’amaanyi, nga kivudde ku nnaku z’amaze nga talya. Okumutuukako mu kasenge gy’asibiddwa, Byanyima yagambye nti yayise mu nzigi nga 7 n’atuuka mu kasenge akakutte enzikiza nga mulimu akatanda akatono Besigye kwe yabadde agalamidde. Omu ku bakola mu kkomera bwe yamubuuzizza lwaki baamusibira
eyo, yamugambye nti eryo kkomera gye basibira abatujju, ekintu Byanyima ky’agamba nti kyamulumye nnyo. Yagambye nti mukwano gwa Besigye, Hajji Obeid Lutale naye yamulabyeko nga tali mu mbeera mbi nnyo, era y’asisinkana abagenyi ba Dr. Besigye kuba takyasobola kutambula kubasisinkana