Abazigu balumbye ekyalo ne batta omuyimbi

OBUNKENKE bweyongedde mu bitundu by’e Mukono ekibinja ky’abavubuka abaabadde babagalidde ebiso, bwe baalumbye ekyalo ne batta omuyimbi w’ennyimba ez’eddiini n’okutuusa ebisago ku bantu babiri okuli n’omumyuka wa  Ssentebe w’eggombolola .

Aba  amire nga bali ku kkeesi omwabadde omubiri gwa Brian Kasimaggwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBUNKENKE bweyongedde mu bitundu by’e Mukono ekibinja ky’abavubuka abaabadde babagalidde ebiso, bwe baalumbye ekyalo ne batta omuyimbi w’ennyimba ez’eddiini n’okutuusa ebisago ku bantu babiri okuli n’omumyuka wa  Ssentebe w’eggombolola .
Ettemu lino libadde ku kyalo Bbanda mu muluka gw’e Kyabalogo mu ggombolola y’e
Nakisunga e Mukono nga gwe basse ye Brian Kasimaggwa, abadde omuyimbi w’ennyimba z’eddiini era omusuubuzi.
Baamusse mu bukambwe, oluvannyuma lw’okugwa mu kibinja  ky’ababaaya abaamusanze ng’addayo awaka ku ssaawa 3:00  ez’ekiro ekyakeesezza ku ssande,
NGA JULY 13, 2025. Omumyuka wa Ssentebe w’eggombolola y’e Nakisunga,
Emmanuel Bbosa, yayise ku lugwanyu bwe yagudde mu batemu be bamu, ne bamutemaatema ebiso n’addusibwa mu ddwaaliro lya Herona, erisangibwa mu ttawuni
y’e Kisoga nga biwalattaka. Waliwo omuntu omulala naye agambibwa okuba nga yalozezza ku bukambwe bw’abavubuka bano era nga naye yabuuse n’ebisago eby’amaanyi.
Poliisi okuva e Kisoga ng’eyambibwaako ginnaayo okuva e Mukono baayitiddwa
bukubirire okujja okutaasa embeera kyokka baagenze okutuuka ng’abatemu baamazeemu dda omusubi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza obulumbaganyi buno, kyokka n’awera nti, bakola kyonna ekisoboka okulaba nga bakwata abeenyigidde mu ttemu lino batwalibwe mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.
Eyattiddwa abadde atemera mu gy’obukulu 21, era ng’abadde ateekateeka kwegatta ku yunivasite y’e Kyambogo atuukirize ekirooto kye eky’okusoma obusomesa.
Okuva lwe yamaliriza siniya ey’omukaaga ku ssomero lya Heremun Secondary School, erisangibwa mu ttawuni y’e Kisoga, ffamiren ye yategeezezza nti, abadde akola
butaweera okufuna fi izi era nga buli lwa Ssande abadde atera okuyamba ku mukulu we Nicholas, okutunda ebintu mu katale k’omubuulo, akabaawo buli lwa Ssande e Kisoga.
Kigambibwa nti, ne lwe yattiddwa, era yabadde yaakannyuka ng’ava mu katale ayolekera mu maka ga nnyina gw’abadde abeera naye.Omugenzi y’abadde omwana asembayo ku baana abana nnyina Cissy ne Moses Mugambwa,
  be baazaala. Bino we bijjidde ng’ab’oku kyalo Bbanda, bakyali ku muyiggo gw’abatuuze bannaabwe abalala babiri; okuli Peter Kawalaata ne Ocho abagambibwa okuba nga bamaze ebbanga erigenda mu mwezi bukyanga babuzibwaawo mu ngeri etategeerekeka.