PULEZIDENTI Museveni akubye ababazzi b’e Kigo enkata bw’abagabidde buli kye bamusabye nabo ne bamukakasa nga bwe bajja okumulabira ddala mu kalulu kwa 2026.
Eggulo Pulezidenti eyabadde ne maama Janet Museveni yalambudde ababazzi abaava e
Nsambya n’abagulira ettaka mwe bakolera mu kifo ekiyitibwa Kigo Carpentry and Skilling Centre, nga bano baava Nsambya n’abagulira ettaka.
Ssentebe w’ababazzi, Ivan Ainebyona n’omuwandiisi, Majidu Kigozi beebazizza Pulezidenti olwokubagulira ettaka n’abawonya oluguudo kwe baali bakolera e
Nsambya nga KCCA ebagobaganya.
Baaloopedde Pulezidenti nga ssente obukadde 428, ekitongole ky’enguudo ekya UNRA ze baabawa bwe zabbibwa abaali abakulembezebaabwe ne batunda n’ebyuma bye yali abagulidde.
Baamugambye nti balina obusobozi obukola ebintu ebiri ku mutindo gw’ensi yonna singa baba bongeddwa obukugu n’abagulira n’ebyuma ebyomulembe. Mu ngeri y’emu era baamusabye abayambe anunule ettaka lyabwe, era n’oluguudo olutuuka ku kifo kyabwe lukolebwe abaguzi babeere nga babatuukako mangu okuva ku luguudo olunene.
“Ssebo Pulezidenti tulina SACCO yaffe gye tusaba otwongereremu obukadde nga 500
kuba olumu tukaluubirizibwa olw’obutaba na kapito ne tusubwa emirimu egimu. Tusaba
n’okutufunira akatale akagazi ebitongole bya Gavumenti ng’amalwaliro n’amasomero bibeere nga bigula wano ebintu era otulangireko ebyamaguzi byaffe ku mikutu egyenjawulo abantu babimanye” Kigozi bwe yasabye.
Museveni yawabudde ababazzi 4 Museveni ne Mukyala we Janet nga balambula
oluguudo lwa Salaama Road olugenda okukolebwa.
Ab’e Salaama nga basanyukira Museveni. Museveni ng’ali ne mukyala we Janet Kataha Museveni, ng’ayogera eri abatuuze ku Salaama Road.
nti ekisinga obulungi beekolemu omulimu bakolere wamu nga kkampuni kuba kijja kubanguyiza okufuna emirimu kuba bwe babeera ssekinnoomu kikaluubirizaamu
ababawa emirimu. Kkampuni eyamba nti bwe mukola ssente muggyako ezikoze olwo amagoba ge mugabana.
“Tugenda kubagulira ebyuma nga bwe musabye, mbawe ebyuma ebizikiza omuliro era njagala akulira ebyensimbi, Jane Barekye byonna abiwandiike wamu.
Oluguudo ng’enda kugamba Katumba Wamala lukolebwe kuba si kya maanyi.
Gavumenti okubagulako ebintu temutumye mwesitukidde kigenda kukolebwa ebitongole byonna ng’amagye, n’amaka ga Pulezidenti gagule wano ebintu kuba mbalinako obuyinza, era n’obukadde 500 ng’enda kubuteeka mu SACCO yammwe nga bwe musabye” Pulezidenti bwe yalagidde wakati mu nduulu okuva mu babazzi.
Museveni yalagidde minisita w’abavubuka n’abaana, Balaam Barugahare akwatagane
n’omuyambi we Hilary Musoke Kisanja, Barekye, omuwandiisi w’enkalakkalira owa minisitule y’ebyensimbi Ramathan Goobi n’abasuubuzi bonna batuuze olukiiko balabe engeri gye basobola okukolamu kkampuni n’okukola ku bizibu ebirala bye batamugambye. Pulezidenti eyabadde omugabi ng’ejjenje yawadde ssentebe wa
L.C 1 ne ssentebe wa NRM ku kyalo buli omu obukadde 12 bagulemu ppikippiki ya Tuku Tuku ate ababazzi n’abawa obukadde bataano bagulemu ente bbiri ne sooda babirye. Ku nsonga z’ettaka lye bagamba eryatwalibwa, yalagidde munnamateeka we Flora Kiconco azinoonyerezeeko. Ekifo kikoleramu abantu abasukka 500 ng’abamu babazzi, abookya ebyuma awamu n’abali mu biruke.
ALAMBUDDE OLUGUUDO LW’E SALAAMA
Pulezidenti yalambudde omulimu gw’okukola oluguudo lwa Salaama Road abakulembeze ba NRM mu Division y’e Makindye ne bawaga nti okukolebwa
kw’oluguudo luno kumenyeewo akadaala k’eby’obufuzi abooludda oluvuganya ke babadde beeyambisa okukolokota Gavumenti. Oluguudo luno oluwerako kkiromita omunaana lwatandika okukolebwa gye buvuddeko era nga baakakolako kkiromita bbiri.
Museveni yasabye abatuuze okweyambisa oluguudo lubayambe okwerwanako mu lutalo
lw’okweggya mu bwavu. Kyokka yanenyezza abantu b’e Makindye olwokulonda obubi ne bamusindikira ababaka booludda oluvuganya be yayise abeebafu ekintun ekizing’amizza enkulaakulana. Ku ssente za PDM, yagumizza
abantu ababeera mu bibuga nga bwagenda okwongera ku bungi bwa ssente ze bafuna ze yagambye nti abanaazibba bubakeeredde. Abatuuze b’e Makindye mu
bubaka bwabwe, obwasomeddwa Ssentebe wa NRM ow’e Makindye, Hajji Hussein Lukyamuzi baasiimye Pulezidenti olw’okukola oluguudo lw’e Salaama n’agamba nti
abavuganya babadde balweyambisa okuvumaganya Gavumenti.
Akulira ekitongole kya KCCA, Hajjati Sharifah Buzeki yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okubawa ensimbi ez’okukola oluguudo lw’e Salaama n’ategeeza nti omulimu gwonna gusuubirwa okuggwa mu December
w’omwaka guno. Abayizi b’essomero lya St.Ponsiano Ngondwe Primary
School Kyamula, Pulezidenti yabawadde ente ttaano ze yabazeemu
obukadde 10 ne Maama Janet Museveni n’abagattirako akakadde kamu bagulemu Ice
cream. Pulezidenti era yatadde ensimbi obukadde 20 mu nsawo ya klezia ya St.Ponsiano Ngondwe