Essimu ekwasizza 3 ku by’owa S5 eyattiddwa

POLIIISI e Masaka n’ekitongole kya Flying Squad bakutte abantu basatu ku ttemu eryakoleddwa ku muwala, Winnie Namuli 20, eyabadde asoma S.5 ku ssomerolya St. Mary’s Sanje mu Ssaza ly’e Kakuuto mu disitulikiti y’e Kyotera.

Namuli
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIIISI e Masaka n’ekitongole kya Flying Squad bakutte abantu basatu ku ttemu eryakoleddwa ku muwala, Winnie Namuli 20, eyabadde asoma S.5 ku ssomero
lya St. Mary’s Sanje mu Ssaza ly’e Kakuuto mu disitulikiti y’e Kyotera.  Omuwala Namuli yabula akawungeezi k’olunaku Lwokuna wiiki ewedde bwe yali ava
ewaabwe ku kyalo Ssamba - Ssanje e Kakuuto okudda e Masaka  okukyalira mukulu we Daisy  Nakigudde abeera e Kijjabweemi mu kibuga Masaka gye yali akimye fi izi.
Ensonda zaategezezza nga poliisi n’ekitongole kya Flying Squad bwe baakutte abantu basatu okuli abasajja babiri n’omukazi omu nga kigambibwa nti, ennamba
z’essimu abatemu ze baaweereza abaffamire okussaako ensimbi ze baasaba nga  tebannatta muwala ziri mu mannya gaabwe. Abakwate baggyiddwa ku byalo okuli, Kagona okwakwatiddwa bbulooka w’ettaka omututumufu n’omukazi omu, ate omusajja
omulala baamukwatidde ku kyalo ekiddako eky’e Kiyumba byonna ebiri mu ggombolola y’e Mukungwe e Masaka.
Kigambibwa nti, poliisi yabadde ekozesa obukugu bwayo mu  kulondoola amasimu okuviira ddala ku ssimu y’omuwala gye baali bakozesa okusindika  mesegi nga bwe bagiggyako kyokka nga ‘network’ zaali ziraga nti, zisikira mu kitundu kino ng’ate n’essimu za bano ezaali ez’okussaako ssente nabo mwe baasangiddwa! Ekirala  ekyavuddeko poliisi    okunyweza bano ke kakwate akaabaddewo n’okwogeraganya
wakati w’essimu z’abaakwatiddwa awamu n’essimu y’omuwala bwe  yali tannazuulwa yakoma kusikira mu kitundu ky’ekimu. Ennamba z’abatemu nga tebannatta
muwala baali baalagidde abaffamire okusooka okusindikako ssente akakadde kalamba, bwe baamala ne babalagira basseeko akakadde kamu n’ekitundu, ate oluvannyuma baasaba basseeko obukadde bubiriAbeebyokwerinda oluvannyuma baasaba omu ku bakwate okuleeta essimu ye bagikozese okulondoola abatemu ng’ono yadduka ne yeekweka era essimu n’agiwa owa bodaboda okugitwala ku poliisi era n’ono naye poliisi  yamukutte. Ono baamukwata ng’adda ewuwe era kigambibwa nti, yali ava mu ssabo erimu.  Bano abakwate babyegaana okubeera n’akakwate ku butemu
buno. Kirowoozebwa nti, abatta Namuli yabasanga mu mmotoka gye yalinnyira ku kifo ekimanyiddwa  nga Katale e Bunazi egambibwa nti, yali ya buyonjo nga be bamwefuulira ne bamuwamba