Bungereza ekozeewo akatiisa ng’enunula abantu baayo e Sudan

YABADDE nga firimu zino eza Katandikabutandisi ku Bukedde tivvi nga Amerika eyamba Bungereza okununula abakungu b’eggwanga eryo abaabadde basaliddwako olutalo mu Sudan. Olukwe lwasoose kubasobera nga balaajana olw’okubwatukakw’emmundu okutasalako mu kibuga Khartoum nga balaba nga bannansi baabwe abatabafaako kyokka nga nabo tebalina we bayita kwesogga ddwaniro okutuusalwe baamize ppini firimu n’etandika. Olukwe olwalukiddwa mu kibuga London ekya Bungereza, lwenyiddemu amawanga amalala okuli Amerika, Cyprus ne Djibouti.

Abangereza abaakunganyiziddwa balinnye ennyonyi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

YABADDE nga firimu zino eza Katandikabutandisi ku Bukedde tivvi nga Amerika eyamba Bungereza okununula abakungu b’eggwanga eryo abaabadde basaliddwako olutalo mu Sudan. Olukwe lwasoose kubasobera nga balaajana olw’okubwatuka
kw’emmundu okutasalako mu kibuga Khartoum nga balaba nga bannansi baabwe abatabafaako kyokka nga nabo tebalina we bayita kwesogga ddwaniro okutuusa
lwe baamize ppini firimu n’etandika. Olukwe olwalukiddwa mu kibuga London ekya Bungereza, lwenyiddemu amawanga amalala okuli Amerika, Cyprus ne Djibouti.
ENNYONYI N’AMAGYE EBYAKOZESEDDWA
Ennyonyi za namunkanga nnya ekika kya Chinook Helicopters zaasinzidde ku kitebe ky’eggye lya Amerika erivunaanyizibwa ku Afrika eririra ekitebe mu Djibouti.
Ennyonyi lugogoma ekika kya Airbus A400M ne C-130 Hercules zaavudde butereevu Bungereza ne zisooka zewogomako mu ggwanga lya Cyprus ng’omulimu zirina gwa kutambuza bakungu okuli ambasada n’ebikonge bya Bungereza ebirala ebibadde ku
kitebe ky’eggwanga eryo mu Sudan ne famire zaabwe. Bungereza yaggyeyo eggye
erisembayo okukozesebwa mu ntalo eziremye buli omu lye bayita Special Air Service (SAS). Lino lya mu bbanga era lyakoze ne linnaalyo erya Royal Air Force erya Bungereza ery’omu bbanga (lye lyabulijjo), erya Royal navy ery’oku mazzi n’ery’oku ttaka lyajjiddeko okulwana olutalo olwabadde wakati mu lutalo lw’e
Sudan. SAS likozesebwa nnyo mu kununula abawambiddwa oba okukola ennumba eziba ziremye nga bw’olaba erya Amerika lye bayita Navy Seals erikola misoni ezisingayo okubeera enzibu.
BWE BAALUSE OLUKWE
Bamaze wiiki nga beegezaamu okununula Abangereza abaasalibwako olutalo mu kibuga Khartoum ne babulwa bwe baludduka kyokka nga ku bonna 4,000 abateeberezebwa okubeerayo, baasazeewo basooke banunuleyo abali eyo mu 100 n’ebyabwe.
Bungereza ekozeewo akatiisa ng’enunula abantu baayo e Sudan Amagye agasoba mu 1,200 ge getabye mu lukwe luno ng’agamu gaasigadde ku mawanga ga muliraano okuli Saudi Arabia nga balengerakigenda mu maaso nga bakozesa ebitangaaza ate amalala gaabadde Misiri nga nago bali bulindaala singa ebintu bitabuka amagye ga Gavumenti ya Sudan agalwana n’abayeekera abaagala okusuula Gavumenti basalawo okulwana
n’aga Bungereza.
Katikkiro wa Bungereza, Rishi Sunak olwaduumidde basimbule, ennyonyi nnya ezaabadde ziri mu Djibouti ne zisitula nga zikubyeko abajaasi, ebimotoka ebirwanyi ne
ttanka ne zoolekera Khartoum. Zaasoseeko mu Ethiopia gye zaayongereddemu
amafuta ne ziddamu okusituka era zaatuukidde mu lugya lwa ambasada wa Bungereza mu Khartoum nga tezifunye na lukusa lwa muyeekera yenna wadde Gavumenti
ya Sudan.
Kigambibwa nti wadde baabadde babategeezezzaako ekigenda mu maaso ne batabaddamu olw’obudde okubabula nga buli ludda lutetenkanya bya lutalo. Ekyo kyabadde kizibu eri Bungereza kubanga essaawa yonna abaabadde bagenze
okununulwa n’abaabadde abanunuzi baabadde basobola bonnaokusanyizibwawo ebikompola ebyesooleza mu kibuga wakati kyokka nga we baabadde bagenda.
Ennyonyi ennene nazo zaasituse ne zoolekera wabula ne zisigala mu bwengula bw’ekisaawe ekiri ebweru w’ekibuga era nga misoni gye ziriko nti, abanunule bwe batuula mu namunkanga zibatuusa ku kasaawe ak’ebbalibbali ke ennene gye zaabadde olwo balinnye begyewo.
Okusinziira ku mawulire ga Daily Mail, ennyonyi namunkanga zaatuuse mu lugya w’ekitebe kya Bungereza ng’ekibuga kivuga masasi kumpi buli wamu ng’abali mu
kizimbe bagudde kkava. Namunkanga olwatuuse ku ttaka ebimotoka ebirwanyi ne bivaamu ne ttanka ne bitandika okulawuna okwetoloola akatundu ekizimbe we kyabadde