Bukedde etadde ssente mu misinde gya Kabaka

KKAMPUNI ya Vision Group ng'ekulembeddwa olupapula lwa Bukedde yeegasse ku Bwakabaka bwa Buganda okutegeka emisinde gy'amazaalibawa ga Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II eginaabaawo omwezi ogujja.

Katikkiro Charles Peter Mayiga (wakati), Henry Ssekabembe (asooka ku ddyo), Micheal Sebbowa (amuddiridde ku ddyo), Remmy Kisaakye (addiridde Katikkiro ku ddyo), Manoj Murali (owookusatu okuva ku kkono
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KKAMPUNI ya Vision Group ng'ekulembeddwa olupapula lwa Bukedde yeegasse ku Bwakabaka bwa Buganda okutegeka emisinde gy'amazaalibawa ga Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II eginaabaawo omwezi ogujja.
Emisinde gino egy'omulundi ogwe 10, gisuubirwa okuddukibwa nga April 16, 2023 mu Lubiri e Mmengo era ng’abantu 100,000, be basuubirwa okugyetabako nga ne ku mulundi guno Kabaka yasazeewo omulamwa gubeere ku kulwanyisa akawuka ka mukenenya ng'abasajja be bakutte omumuli.
Ssaabasajja yassaawo enkola y'emisinde gino okubanga n'omulamwa gw'okudduukirira abantu abali mu bwetaavu naddala mu by'obulamu era mu myaka 10 gino mubaddemu okudduukirira abakyala abalina obulwadde bw'okutonnya abamu kye bayita ekikulukuto, omulamwa omulala gwali gwa kudduukirira abalina obulwadde bwa nnalubirri oba buyite ‘sickle cell’, obuleetera omuntu obutaba na musaayi gumala
ate kati n'asalawo omulamwa gubeere gwa kulwanyisa kawuka ka mukenenya omwaka gwa 2030 we gunaatuukira obulwadde buno bubeere nga bufumwa bufumwa, nera ng'enfunda zino zonna Bukedde abadde musaale mu kuwagira enteekateeka zino zonna.
Abavujjirizi abalala mu kaweefube ono mwe muli aba kkampuni y'ebyempuliziganya eya Airtel ate nga kuno kwe kwegattiddwa n'ekitongole ekirwanyisa mukenenya mu nsi yonna ekya UNAIDS.
Okufaananako ne Bukedde, Airtel nayo ezze nga ye muvujjirizi omuklulu mu misinde gino era bannyiniyo beeyamye obutasalako ate nga buli lukya baakwongera okulinnyisa empeereza yaabwe eri bannayuganda bonna nga mu kiseera ekitali kya wala bajja
kuba batongoza emupuliziganya y'amasimu eya sIpiiidi eyitibwa 5G.
Bwe yabadde ayogerako mu kutongoza emisinde gino mu bimuli bya Bulange, omukuhhaanya w’olupapula lwa Bukedde, Micheal Sebbowa yeeyamye (ku
lwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde) okuwagira emisinde gy’omwaka guno n’enteekateeka z’Obwakaba zonna ezigendereddwaamu okuyamba omuntu waabulijjo mu ggwanga.
“Tweyama okuwagira enteekateeka zonna ezigendereddwaamu okukyusa embeera z’abantu baffe abaabulijjo mu Bwakabaka kubanga kye kimu ku bigendererwa byaffe nga kkampuni y’amawulire," Ssebbowa bwe yategeezezza ng’ayogera ku lw’abamu ku bavujjirizi b’emisinde gino ku mukolo guno.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo guno kwe yasinzidde okutongoza emisinde gino era n'atongoza obukiiko bubiri, okwabadde ak’okutegeka amazaalibwa ga Kabaka agabaawo nga April 13 nga ku mulundi guno jja kuba aweza emyaka 68, ate
n'akanaategeka emisinde gino eginaabaawo nga April 16.
Katikkiro yannyonnyodde nti bulijjo emisinde gye gisooka ne tulyoka tukuza amazaalibwa, kyokka ku mulundi guno beesanze nga tekijja kusoboka kubanga Ssande
ezikulembera ziriko olw'okunyeenya matabi ate n'olwa Paasika kye baavudde bakkaaya emisinde gibeeyo nga April 16.
Akakiiko ak'amazaalibwa kaakukulirwa Minisita w'emirimu egy'enkizo, David Mpanga, ate ak'emisinde kaakukulemberwa omumyuka asooka owa Katikkiro, Polof. Twaha Kaawaase.
Omukolo guno gwetabiddwaako abakungu b’olukiiko lwa kabineeti abaakulembeddwa omumyuka owookubiri owa Katikkiro era akulira eggwanika ky’Obwakabaka,
Waggwa Nsibirwa, n’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Patrick Mugumbule, baminisita b'e Mmengo, abaakulembeddwa, Henry Ssekabembe (minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuzaamu).
Mu bavujjirizi baakiikiriddwa, akulira Airtel, Munoj Murali ne Sarah Nakku (okuva mu kitongole kya UNAIDS.
Bano beebazizza Kabaka olw’okukulembera enteekateeka z’okukyusa obulamu bw’abantu baabulijjo ng’ayitira mu miramwa egyenjawulo.
Akulira kkampuni y'Obwakabaka enteesiteesi eya Majestic Brands, Remmy Kisaakye, yagambye nti omuntu ayagala okwetaba mu misinde gy’omulundi guno, olina okugula omujoozi okuva mu maduuka ga Airtel mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, ku Bulange e Mmengo, ku ofiisi za New Vision, Bukedde oba okweyambisa enkola
ya Airtel Money ku ssimu yo, ku 20,000/- zokka.