BEBE Cool attunka ne kazannyirizi Alex Muhangi gwe yatutte mu kkooti ng’amuvunaana okukozesa ennyimba ze mu bivvulu bye nga tamuwadde lukusa.
Eggulo, Muhangi yalabiseeko mu kkooti ya City Hall mu Kampala, okuwulira omusango ogumuvunaanibwa okukozesa konsati Bebe z’abeera ayimbye mu bivvulu bya Comedy Store, Muhangi by’ategeka n’abissa ku mitimbagano n’emikutu emirala.
Bebecool Ng'ayogera.
Ebivvulu ebyo Muhangi abikozesa ng’ategeka bakazannyirizi banne n’abayimbi ne basanyusa abantu.
Mu mpaaba ye, Bebe agamba nti, amaze ebbanga ng’ayimba mu bivvulu ebyo, omutegesi Muhangi n’akozesa konsati ezo oba kiyite ‘performance’ Bebe z’abeera akoze n’azitambuza ku mikutu n’afuna ssente nga talina lukusa.
Ku kkooti, Bebe teyabaddewo kyokka looya we, Ebbo Ssentongo yatangaazizza ku kituufu Bebe ky’ayagala.
Yagambye nti, Muhangi avunaanibwa okukozesa ekiyiiye ekitali kikye mu kiti kino, ekiyitibwa ‘Neighboring right’, so si ‘Copy right’ ng’abamu bwe balowooza.
Muhangi Bwe Yabadde Mu Kkooti Eggulo
Ebyo byombi byagala kufaanagana naye ekya ‘neighboring right’ ekivunaanibwa Muhangi kigwa mu mbeera nti, ‘Copy right’ ekwata nnyo ku muwandiisi oba omuyimbi kyokka ekirala kikwata ku muyimbi gw’osasudde n’ayimba ka tugambe mu bbaala yo oba mu kivvulu ky’omusasudde ayimbemu, n’okwata vidiyo oba ebifaananyi ebyo n’obikozesa nga takukkirizza.
Ssentongo agamba nti, Muhangi azze akozesa vidiyo za Bebe okuva 2017 n’aziteeka ku mikutu gye ng’omuyimbi oyo ayimba mu bivvulu bya Muhangi naye nga talina lukusa.
Kyokka Muhangi ku kkooti yategeezezza nti, ye ky’amanyi yapangisa Bebe ayimbe mu kivvulu kya Comedy Store n’atayimba ate yeekanze amututte mu kkooti.
Ekyo kyaliwo omwezi oguwedde, Muhangi bwe yakkaanya ne Bebe ayimbe wabula kigambibwa nti, Bebe bwe yatuuka mu kadde k’ekivvulu n’asaba balansi alyoke ayimbe nga bwe baali bakkaanyizza n’atamufuna, n’atambulamu.
Muhangi yagenda ku mikutu egy’enjawulo ng’alaga obutali bumativu ekyavaamu lutalo wakati w’ababiri abaali bakolagana.
Muhangi yagasseeko nti, Bebe bw’aba ayagala kumutiisatiisa, ye tatidde bajja kweyongerayo kuba yamuwa ne ssente z’ekivvulu ky’ataayimbamu naye azibanja. Omulamuzi yabawadde wiiki bbiri bakkaanye bwe balemwa baddeyo balabe ekiddako.
Comments
No Comment