Aba Miss ne Mr. Bukedde balambudde ettaka lye bavuganyaako

27th April 2023

ABAVUGANYA mu za Miss ne Mr Bukedde abali ku fayinolo balambuziddwa ettaka abawanguzi lye bagenda okuwangula, buli omu awera kulitwala. 

Aba Miss ne Mr. Bukedde balambudde ettaka lye bavuganyaako
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Miss ne Mr Bukedde #Ettaka

ABAVUGANYA mu za Miss ne Mr Bukedde abali ku fayinolo balambuziddwa ettaka abawanguzi lye bagenda okuwangula, buli omu awera kulitwala.

Nakiryowa Ng'alaga Ekyapa N'essanyu Kye Bawakanira.700

Nakiryowa Ng'alaga Ekyapa N'essanyu Kye Bawakanira.700

Ettaka lino lisangibwa Kakiri ku kyalo Mannyogaseka mu disitulikiti y’e Wakiso nga liriko obugazi bwa fuuti 50 ku 100 nga ziri poloti bbiri eya Miss ne ya Mr.

Gerald Batte amanyiddwa nga Njovu, ddayirekita wa Njovu Estate e Nansana ye yabalambuzza ettaka era n’abannyonnyola ku butya bwe basobola okulikozesa okukyusa obulamu bwabwe wadde nga nabo buli omu alina ekirowoozo kye ky’agala okukolerako.

Batte Owa Njovu(mu Kkooti)  Ng'alambuza  Abavuganya Ettaka Gye Liyisiza.

Batte Owa Njovu(mu Kkooti) Ng'alambuza Abavuganya Ettaka Gye Liyisiza.

Bo abavuganya bacamuse bwe batuuse ku ttaka lino eriri mu kifo ekirungi nga liri ku kkubo ate lirina etttaka eddungi nga ne bwe kuba kulunda oba kulima likola bulungi nnyo era bakira buli omu awera nti y’agenda okuliwangula.

Fayinolo za ku Ssande eno ku Theater Labonita ng’emiryango gyakuggulwawo ku ssaawa 10:00 ez’akawungezi. Okuyingira kwakubeera ku 20,000/=.

Abayimbi bangi okuli BebeCool era omu ku basazi b’empaka bagenda kusanyusa abantu. Bakazannyirizi Maurana ne Reign be bagenda okubeera bakalabaalaba b’omukolo.

Kisitu Ng'essanyu Limutta Okulaba Ku Kyapa Kye Bawakanira.

Kisitu Ng'essanyu Limutta Okulaba Ku Kyapa Kye Bawakanira.

Omuwangizi w’empaka Miss ne Mr buli omu agenda kuvaawo n’ekyapa ky’ettaka n’obukadde 10 ate omuwala n’omulenzi abanaakwata eky’okubiri buli omu afune 5,000,000/=.

Empaka zitegekeddwa Bukedde ttiivi eri wansi wa Vision Group evunaanyizibwa ne ku lupapula lwa Bukedde n’eziwagirwa aba Njovu Estate e Nansana, Life Care Company ltd abakugu mu kuyooyoota nsusu, aba Sumz Foods abakola eby’okulya ne Dexe Black Hair Shampoo.

Nalumu Ng'essanyu Ly'okulaba Ku Kyapa Limutta.77

Nalumu Ng'essanyu Ly'okulaba Ku Kyapa Limutta.77

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.