Ebbinu ly’endongo n’okuta akaka mu lumbe lwa Kato Lubwama bisaanikidde amaka ge nga bagezaako okuteekesa ekiraamo kye mu nkola.
Abamu ku bantu abaabaddeyo nga bayimba.
Mu birala, omubaka Hilderman ayombye olwa bayimbi banne obutamuwagira ng’alwanirira etteeka ly’ebiyiiye ‘Copyright’.
Lyabadde bbinu okusiima emirimu gy’omulongo Kato Lubwama n’abamu ku bakungubazi okuta akaka ku nsonga ez’enjawulo bwe baabadde mu lumbe mu maka g’omugenzi ku Lwokusatu ekiro.
Hilderman(ku kkono) Hanson Baliruno ne Eddy Kenzo ku lumbe.
Endongo bwe yatandise okusindogoma ng’oyinza okulowooza nti waliwo ekivvulu ate abamu omwabadde ne bannabyabufuzi bwe baatandise okwogera ng’oyinza okulowooza nti bali ku kadaala ka byabufuzi.
Abakungubazi nga bagabulwa.
Abadongo baagambye nti baabadde batuukiriza ekiri mu kiraamo ky’omugenzi. Omuyimbi Bebe Cool bwe baamuwadde akazindaalo yasabye bayimbi banne obutayingisa nsonga za kufa kwa Kato mu byabufuzi kyokka Mamuli Katumba n’amwanukula ng’agamba nti tebakyalina walala we bayinza kuzoogererako okuggyako wano kubanga n’omugenzi abadde munnabyabufuzi.
Omuyimbi Spice Diana ng'atuuse ku lumbe.
Ye omubaka Hillary Kiyaga amanyiddwa nga Dr. Hilderman yennyamidde olw’abayimbi banne obutamwegattako ng’alwanirira etteeka lya Copyright ekyaleetera Gavumenti okulirinnyako.
Yagambye nti waliwo ne bannabyabufuzi abeekiise mu mulimu gwabwe olw’okulowooza nti bafuna ssente nnyingi nnyo mu bivvulu ekyavaako okubasindikira URA ebakanuulidde amaaso n’okubalinnya akagere.
Ssuuna Ben owa Bukedde ne Ssenga Ssebbanga mu binyaanyaanya byabwe mu lumbe!
Yategeezezza nti essaawa eno abayimbi bangi abalina ennyimba naye batya okutegeka ebivvulu kubanga bya bbeeyi nnyo nga n’omusajja akedde e Masaka okusuubuula enseenene azireeta n’afuna ssente ze gwe z’otosobola kufuna kyokka ng’omaze emyezi egiwera ng’okitegeka.
Minisita wa Kampala, Hajjati Minsa Kabanda yatenderezza Kato Lubwama olw’omukululo gw’alese n’akuutira Bannayuganda okukomya enjawukana z’ebyobufuzi n’okumanya nti bonna Bannayuganda.
Omuyimbi Annet Nandujja (owookubiri ku ddyo) naye yabaddeyo.
Yabasabye okuwagira gavumenti yonna ebeere mu buyinza n’ategeeza nti ye waakuwagira yenna anaawangula obuyinza kubanga takyasobola kubeera ku ludda luvuganya.
Loodi mmeeya Ssaalongo Erias Lukwago yagambye nti Kato kuva dda nga wa D.P era yali musaale mu kuzza ekibiina ku mulamwa ng'ayagala ebintu ebinene kyokka ennaku zino waliwo abeeyita abagagga nga tebalina ke balina.
Bebecool ng'ayogerako eri abantu.
Abayimbi okwabadde Spice Dianah, Mamuli Katumba , Suuna Ben, Amir Ssengendo n'abalala baawadde abantu essanyu ng’eno bandi gye yalaama okumukubira ebuvuga okumala ennaku musanvu bwekuba ebidongo.
Kato Lubwama yafudde mu kiro ekyakeeseza Olwokubiri era nga waakuziikibwa ku Lwokusatu olujja e Nkozi Mawokota.