Isma aziikiddwa wakati mu bigambo ebikaawu okuva eri abakungubazi.

7th May 2023

Omubiri gwa Isma Lubega Tusuubira amanyiddwa nga Isma Olaxes gugalamizidwa ku biggya bya bajajjaabe ku kyalo Katwe mu ggombolola y’e Nakisunga e Mukono.

Isma aziikiddwa wakati mu bigambo ebikaawu okuva eri abakungubazi.
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Bakungubazi

Omubiri gwa Isma Lubega Tusuubira amanyiddwa nga Isma Olaxes gugalamizidwa ku biggya bya bajajjaabe ku kyalo Katwe mu ggombolola y’e Nakisunga e Mukono.

Emmotoka eyaleese omulambo gwa Isma ng'etuuka.

Emmotoka eyaleese omulambo gwa Isma ng'etuuka.

Omulambo gwa Isma Gutuuse ku kyalo Katwe e Mukono ku ssaawa 8:00 wakati mu maziga okuva mu nnamungi wa bantu, okubadde ab’eng’anda n’emikwano era nga gututwaliddwa butereevu mu nnyumba ye ey’olubeerera.Omubaka wa Kampala Central Muhammed Nsereko n'omubaka Muhammad Ssegirinya nga bali mu kuziika Isma ku kyalo Katwe e Mukono.

Omubaka wa Kampala Central Muhammed Nsereko n'omubaka Muhammad Ssegirinya nga bali mu kuziika Isma ku kyalo Katwe e Mukono.

Akulembeddemu okubuulira mu kuziika kuno, Sheikh Yunus Kizito akuutidde abakyali abalamu okufaayo ennyo okukolera ebintu ebinaasobola okubayingiza ejjana era n’asaba Bannayugada naddala abakozesa emikutu gya yintaneeti okwegendereza ebyo bye boogera.

Bo bannamawulire ab’okumitimbagano (bloggers) n’abayimbi nga bakulembeddwa BebeCool, batenderezza nnyo obukugu Isma bw’abadde akozesa okulambika ensonga za masanyu n’okutumbula muziki wa Uganda, era ne bategeeza nti bamusaaliddwa nnyo.

Abakungubazi nga baaziirana.

Abakungubazi nga baaziirana.

Abamu balaze obutali bumativu olw’okuttibwa kw’abantu ab’enjawulo kyokka nga tewali kikolebwa era bali mu kutya.

Aba ttiimu MK nga bakulembeddwa Balam Barugahale bavuddeyo ne bategeeza nga gavumenti bw’etatta bantu baayo era ne basaba wabeewo okuwuliziganya mu mbeera eriwo.

Aba MK movement mu kuziika.

Aba MK movement mu kuziika.

Hajji Muhammed Kasajja taata w'omugenzi asabye abakungubanzi okusabira taata w’omugenzi olw'okusoomooza kw’alimu era ne yeebaza abantu okuyimirira awamu naye.

Omulambo gwa Isma nga bagutwala okuguziika.

Omulambo gwa Isma nga bagutwala okuguziika.

Omukungubazi omukulu era nga ye Mubaka wa Kampala Central, Muhammad Nsereko asabye wabeewo okusonyiwagana mu ggwanga  kubanga eggwanga lyolekedde akatyabaga.

Nsereko alaze obweraliikirivu okuba nga abantu abalikuumiddwa ate kati be battibwa ate abalikuumye abantu be bakuuma era n’asaba abatwala eggwanga okukwata ensonga y’okutta abantu n’enkaliriza.

Isma nga bamutwala mu nnyumba ye ey'olubeerera.

Isma nga bamutwala mu nnyumba ye ey'olubeerera.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.