Amawulire

Be basendedde ebintu ku makubo basabiddwa okubeera n'essuubi

OMUSUMBA w’ekkanisa ya St. James ku Busumba bw’e Kawanda mu busabaddinkoni bw’e Kazo Rev. Samuel Ssekubunga asabye abakirizza okubeera n’essuubi mu bulamu bwabwe era baleke kwekubagiza kuba Mukama yazuukira ku lwaffe ffenna abalamu.

Be basendedde ebintu ku makubo basabiddwa okubeera n'essuubi
By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision

OMUSUMBA w’ekkanisa ya St. James ku Busumba bw’e Kawanda mu busabaddinkoni bw’e Kazo Rev. Samuel Ssekubunga asabye abakirizza okubeera n’essuubi mu bulamu bwabwe era baleke kwekubagiza kuba Mukama yazuukira ku lwaffe ffenna abalamu.

Omusumba Ssekubunga bw’abadde awa ekigambo kya Katonda  eri abakkiriza agambye nti ekisinga okwewuunyisa ku bantu essuubi libaggwako mangu abamu ne batuuka n'okufiirwa obulamu bwabwe nga kino akireese ku bantu abaggyiddwa ku nguudo n’agamba nti abantu bano balina okubeea n’essuubi nti ebintu byabwe bagenda kubizzaawo.

Agambye nti abantu bano bakimanye nti mukama Katonda gy’ali era amaziga ge bakaaba essaawa yonna asobola okugafuula essanyu gye bali era balina kwebaza Katonda nti obulamu babusigazza wabula balina okubeera n’essuubi nti ebintu bagenda kubizzaawo.

Tags:
Amawulire
Kusenda
Makubo
Ssuubi
Bintu