Ebikwekweto ebituumiddwa operation "shafisha" bitandise okussibwa mu nkola, okuyimiriza emu ku kkampuni ezaaweebwa olukusa okunoonyereza, nti ate bo ne basima ebyobugagga eby’omu ttaka.
Kkampuni eno eya Mugobwa - katuugo small scale minors, kigambibwa nti yaweebwa layisinsi okuva mu minisitule y'eby’obugagga obw’omu ttaka, okunoonyereza ku zzaabu ku kyalo Lubaali mu ggombolola y'e Kitumbi e Kassanda.
Kitegeezeddwa nti bo mu kifo ky'okuddamu okufuna layisinsi ebakkiriza okusima, baatandikirawo okusima era minisitule ng'eyita mu poliisi evunaanyizibwa ku by’obugagga eby'omu ttaka, n'ebayimiriza mu kikwekweto kino ekya wiiki ebbiri.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Lameck Kigozi, agambye nti, babalagidde baggyewo ebyuma byabwe n'abakozi baddeyo ewaabwe oluvannyuma lwa layisinsi zaabwe okusazibwamu.