EDWARD Kiwalabye, bbulooka w’ettaka e Buloba ku lw’e Mityana awangudde ebyassava bya Ssekukkulu mu kazannyo ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu Olusaniya.
Yawagundde ng’ayita ku Bukedde Fa Ma 100.5 Embuutikizi oluvannyuma lw’abakozi ba Bukedde okumugwako ng’awuliriza pulogulaamu Ekiryatabaala ku ssimu ye ‘mapeesa’.
Aba Bukedde abaabadde bakulembeddwaamu Michael Mukasa Ssebbowa, omukuhhaanya w’olupapula, Simon Maseruka eyakazibwako erya Simo Omunene ne MC Maswanku ‘katayira’ wa Bukedde baamusiimye okutumbula Embuutikizi era ne bamutwala mu supakamaketi eriraanyeewo mwe yalonze by’ayagala mu ddakiika ssatu.
Ebimu ku bintu bye yalonze kwabaddeko akasawo ka sukaali, ssabbuuni, butto n’omuceere nga bino byonna Bukedde yabisasudde ye n’akola gwa kudda waka ng’azitoye.
Kiwalabye yagambye nti amaze ebbanga ng’awuliriza Bukedde era n’asiima Bukedde olw’okubeera ab’amazima kubanga bulijjo alowooza bya kiyaaye.
Ssebbowa yannyonnyodde nti omukisa gw’okuwangula ku ttu lya Ssekukkulu guno gukyali muggule okutuusa nga December 20, 2023 akalulu akasembayo lwe kanaakwatibwa.
Abawanguzi mu kalulu kano baakukwasibwa ebirabo byabwe nga December 22, ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde mu Industrial Area.
Okuwangula ng’oyita mu lupapula lwa Bukedde, ogula olupapula n’okebera ku muko ogwokubiri n’ojjuza akakonge akaliko ebikukwatako okuli erinnya lyo, ennamba y’essimu ne gy’obeera. Akakonge kayuzeemu okawe atunda amawulire gaffe oba okaleete ku Bukedde mu Industrial Area awatuukirwa abagenyi.
Omuwuliriza wa leediyo olina kwekuumira ku Mbuutikizi nga Kiwalabye bwe yakoze.
Ate omulabi wa Bukedde Tv, gwe w’olabira ekitereke kya Ssekukkulu ku lutimbe lwo ng’okubirawo essimu oyogere kimu nti “Gabula Ssekukkulu gye njagala”.
Ng’owangudde. Gabula Ssekukkulu Olusaniya awagiddwa Ugachick, kkampuni y’omuceere gwa SWT ne Royal Milk.