Akalulu ka Gabula Ssekukkulu akasembayo kakwatibwa Lwakusatu

AKALULU ka Gabula Ssekukkulu akasembayo kagenda kukwatibwa ku Lwokusatu lwa wiiki eno, nga kaakulagibwa butereevu ku mayengo ga Bukedde TV 1.

Omukung’aanya Ssebbowa ng’annyonnyola..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Akalulu #Gabula Ssekukkulu #Lwakusatu

Bya Lawrence Kizito

AKALULU ka Gabula Ssekukkulu akasembayo kagenda kukwatibwa ku Lwokusatu lwa wiiki eno, nga kaakulagibwa butereevu ku mayengo ga Bukedde TV 1.

Abawanguzi bagenda kufuna ebirabo byabwe ebyassava ku Lwokutaano lwa wiiki eno nga December 22, 2023, ku ofiisi za Bukedde ezisangibwa e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero.

Michael Ssebbowa omukung’aanya wa Bukedde yagambye nti abasomi ba Bukedde bakyalinayo omukisa ogw’olwaleero n’enkya, ku Lwokubiri, okwetaba mu kazannyo kano era n’abakubiriza okujjuza akakonge akali mu lupapula lwa Bukedde, basobole okwesogga akazannyo kano ku nkomerero yaako.

Okwetaba mu kazannyo kano, ogula olupapula lwa Bukedde, n’ojjuza akakonge akali ku muko ogwokubiri, n’okasalamu n’okatwala ku ofi isi za Bukedde ezikuli okumpi oba ewa agenti wa Bukedde ali mu kitundu kyo.

Abawanguzi bagenda kwejavaana ku Ssekukkulu n’ebyassava bya Bukedde omuli enkoko okuva mu Ugachick, omuceere gwa SWT ogusinga omutindo mu ggwanga, amata ga Royal milk agasinga okuwooma, enkota y’ettooke gye bayita nsituliraako, butto, kw’ossa samuli n’obuloosa obuteeka akawoowo mu nva.

Akalulu kano kazze kakwatibwa era nga abawanguzi bazze bafulumira mu lupapula lwa Bukedde. Abawanguzi abeetabye mu kazannyo kano ku Bukedde TV, nabo baakulangirirwa ku Lwokusatu.