OMULAMUZI Isaac Muwata owa kkooti enkulu mu Kampala ayongezzaayo okuwulira okusaba kw’okweyimirira kwa bawala b’omugagga Katanga.
Muwata okwongezaayo kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwa amyuka ssaabawaabi wa gavumenti Samalie Wakoli okutegeeza nti tebaaweebwa mpapula za bano mu budde ate n’ezimu ennyukuta nsiiwuufu tezirabika bulungi.
Patricia ne Martha Katanga nga Bava mu kkooti okusaba okweyimirirwa.
Leero, Patricia Nkwanzi ne Martha Kankwanzi ssaako omukozi wa waka George Amanyire ne Dr Otai Charles nga bayita mu bannamateeka baabwe baleese abantu baabwe okubeeyimirira wabula oludda oluwaabi ne lwerema nti tebagenda kusobola kwanukula ku nsonga zaabwe.
Bannamateeka babasibe okuli Jet Tumwebaze, Mac Dusman Kabega n’abalala bategeezezza omulamuzi Muwata nti kati mulundi gwa 10 ng’oludda oluwaabi lussaawo embeera ku kusaba kwa bano nga kirabika bakikola mu bugenderevu.
Patricia aleese abeeyimirira okuli bba Mwine Mukulu Wilson , Zakye Merian Kyamanyanga Ne Herbert Kamugisha ssezaala we ate Martha Nkwanzi aleese Christian Kivuna bba , Willis Bashasha,ne Harriet Hada Mucunguzi akulira ebyamayumba mu NSSF.
Otai naye aleese abantu be okuli Shamim Nakasujja owa Afric Child Centre ne Kaaya Hasifah Bukenya ssaako Alamo Christine n’omujaasi wa UPDF Opio Godfrey. Amanyire Joab Tushabe, Murungi Shallon Waitress ne Bugolobi ssaako Anthony Atwijukire .
Omulamuzi alagidde oludda oluwaabi okwanukula nga February 2 ,2024 ate awe ensala nga February 12, 2024.