Amawulire

Batongozza obukiiko okulwanyisa envuba embi

AMYUKA omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Umar Lule Mawiya atongozza obukiiko obugenda okuyamba ku ggye lya UPDF okulwanyisa envuba embi.

RCC Umar Lule Mawiya ( ku ddyo) n’ábakulembeze mu Makindye mu kutongoza obukiiko obulwanyisa envuba embi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AMYUKA omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Umar Lule Mawiya atongozza obukiiko obugenda okuyamba ku ggye lya UPDF okulwanyisa envuba embi.
Obukiiko buno yabutongolezza e Gaba nga bwakuyamba ku myalo okuli ogw’e Gaba, Mulungu ne Luzira.

Abakulembeze abaalondeddwa kuliko abavubi abakolera ku myalo gino nga be bagenda okulondoola ebikolwa eby’envuba embi ebikolebwa ku myalo omuli okukwata obwennyanja obuto, obutimba obutakkirizibwa kuvuba, obucaafu n’ebikolwa ebirala ebimenya amateeka.
Atwala ebyenvuba ku mwalo e Gaba, Jude Ayebale yategeezezza nti obukiiko buno bwalondeddwa okulaba nga bateekesa mu nkola amateeka agalung’amya envuba ennungi ku nnyanja.
Obukiiko buno era bwakulondoolanga abantu abatandika omulimu gw’okuvuba gattako okulwanyisa ebeenyigira mu nvuba embi nga bakozesa amataala mu kiro ekitakkirizibwa, okulondoola amaato agalina okukozesebwa, okulondoola ensonga y’abantu abasussa amaato ekkumi ate nga kinotekikkirizibwa ku mwalo.
Baakulondooola amaato gonna okukakas anga gasasula layisinsi egakkiriza okukola. RCC Mawiya era yalayizza obukiiko buno obwalondeddwa n’okubutongoza ku mukolo guno. Yagambye nti obukiiiko buno era bwakuyambako mu kunyweza ebyokwerinda ku myalo gino kubanga abazzi b’emisango eno gye baddukira oluvannyuma ne beeyongerayo ku bizinga. Ssentebe w’akakiiko akaalondeddwa aka disitulikiti, Muhammed Ssentamu yagambye bazze kulongoosa nnyanja n’okulwanyisa envuba embi ebadde ku nnyanja Nalubaale era nga bbo ng’abakulembeze baakukozesa amaanyi mangi okulaba ng’ebizibu ku myalo bikendeera

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: