Amawulire

Hajjati Minsa agenda kutandika okunoonya emikono mu Kampala eginaasobozesa gen. Muhoozi okwesimba ku bwapulezidenti

MINISITA wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda akwasiddwa ebitabo okutandika okukung’aanya emikono mu diviizoni ezikola Kampala eginaasobozesa Gen. Muhoozi Kainerugaba okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2031.

Hajjati Minsa agenda kutandika okunoonya emikono mu Kampala eginaasobozesa gen. Muhoozi okwesimba ku bwapulezidenti
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

MINISITA wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda akwasiddwa ebitabo okutandika okukung’aanya emikono mu diviizoni ezikola Kampala eginaasobozesa Gen. Muhoozi Kainerugaba okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2031.

 

Ebitabo bino byatongozebwa akulira offiisi ya ssentebe w' ekisinde kya PLU David Kabanda  ,wiiki ewedde  era nga baluubirira emikono egisoba mu bukadde 19.

David Kabanda Ng'akwasa Hajjati Minsa Kabanda Ebitabo

David Kabanda Ng'akwasa Hajjati Minsa Kabanda Ebitabo

Akwasiddwa ebitabo ebinene 5 ebigenda okukozesebwa mu diviizoni ezikola Kampala okuli, Kampala Central, Nakawa, Kawempe, Makindye ne Rubaga so era aweereddwa n'obutono obugenda okutwalibwa ku buli kyalo.

 

Kabanda alambuludde nti obutabo obutono, bwe bugenda okusooka okukozesebwa oluvannyuma amannya g’abewandiisizza gateekebwe mu bitabo ebiweereddwa diviizoni nga ssinga ekimu ku bitabo kibula ekisigaddewo kye kyesigamwako.

 

Hajjati Minsa Kabanda Ng'atuuka Ku Ofiisi Ya Ssentebe Wa Plu E Nakasero.

Hajjati Minsa Kabanda Ng'atuuka Ku Ofiisi Ya Ssentebe Wa Plu E Nakasero.

Ekitabo kya  diviizoni nga kiddiziddwa Hajjati Minsa oluvannyuma lw'okujjula, waakufuna olunaku alangirire olunaku bonna abeewandiisizza lwe banaakakasa oba nga amannya gawaandikiddwa mu butuufu bwago.

 

Ategeezezza nti hajjati Minsa ye minisita eyasooka okwewandiisa mu kitabo kino era n’amutendereza  olw' okulengerera ewala. Ekya baminisita okwewandiisa mu bitabo bya PLU yagambye baali bakireka okutuusa nga bafunye ekiragiro kya pulezidenti kyokka Hajjati Minsa yamwewuunyisizza bwe yasalawo obutalinda kiragiro.

 

Okuva ku ntadikwa yagambye  azze atunda ekisinde mu bantu okuva nga kikyayitibwa MK movement era waliwo ne beeyayigiriza okwogera erinnya ly’ekisinde kya PLU abaali bagufudde omugano okuliyita PLE ate abalala piraawo.

 

Hajjati Minsa yagambye nti wadde awagira PLU naye akyali munna NRM  wabula Muhoozi amulaba nga genereeta erinda okukoleezebwa essaawa yonna.

 

Ensonga y'okungaanya emikono asuubizza okugikola mu bwerufu era nasuubiza okutongoza ebitabo ebimuweereddwa mu buli divizoni.

 

December 20, 2026 lwe lunnaku olumuweereddwa okuzza ebitabo ebyo abikwase Gen. Muhoozi Kainerugaba ku mukolo ogunategekebwa mu kisaawe e Kololo.

 

Bakira akwasibwa ebibye ng'eno abantu ab'enjawulo okuli abava mu Goma divizoni, disitulikiti ye Buikwe, abamu ku bakulembeze ba takisi, abe teeso nga bakulembeddwa eyali minisita omubeezi ow'ebyentambula Musa Ecweru,  ssentebe wa NRM mu gombolola ye Kasambya, Robert Ssemata, ssentebe wa NRM e Masaka ,Rodgers Bulegeya, omubaka Ismail Lubega Kaka ( Kakuuto) nga nabo balinze okukwassibwa ebyabwe okutandika okukola omulimu

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Mikono
Kampala
Kunoonya
Kusobola
Kutandika
Minsa Kabanda