OMUSAWO wa Poliisi okuva ku ttendekero lya Poliisi e Kabalye, eyakebera abavubuka agambibwa okukolebwako ebikolwa by’omukwano gw’ebikukujju nga byabakolebwako Paasita, Robert Kayanja owa Miracle Centre e Lubaga awadde obujulizi mu kkooti.
Phenehansi Bwambale 44, ye yawadde obujulizi ku kkooti ya Nateete-Lubaga e Mengo ey’Omulamuzi Adams Byarugaba.
Yabadde akulembeddwaamu munnamateeka Bernard Mugenyi, n’ategeeza nti yakuguka mu by’okwekebejja emibiri gy’abantu ng’akirinamu diguli bbiri n’agattako nti alina obumanyirivu bwa myaka etaano.
Yagambye nti, mu kwekebejja abavubuka bano, yasanga ababiri ku bbo okuli; Peter Sserugo ne Alex Wakamala nga balina obuzibu mu ggumba ly’akabina lye yayise (tail bone) nga kirowoozebwa waliwo ekyabatuukako ekiyinza okuba nga kyava ku bintu
ebiyinza okuba nga byabakosa ne bafuna obulumi n’agattako nti yabasanga n’enkovu ku kabina nga kisoboka okuba nga zaava ku bintu ebitali bya bulijjo ebyabakosa okugeza oba nga yinfekisoni, oba ekintu okubayingira okuva ebweru w’awafulumira obucaafu. agambye nti baalina obulumi era n’abawa amagezi okukeberebwa okwenjawulo nga bakozesa ka ttivvi.
Ono era yagambye nti abavubuka baayawulwamu ebibinja bisatu okwali be yakeberera mu ddwaaliro lya Poliisi e Nsambya ate abalala mu kkomera e Masindi. Abalala abaakeberebwa kuliko; Reagan Ssentongo, Moses Tumwine, Martin Kagolo nga baasangibwa balamu bulungi okuggyako Labeeb Kalifah eyagaana okumukebera ng’agamba asooka kuva mu kkomera gye yali e Masindi.
Omusawo era yategeezezza nti abavubuka bonna be yakebera, baamugamba ebintu ebifaanagana okwali okwogera nti bwe baali batuusibwako ebikolwa bino omusumba Kayanja yali akozesa kkondomu n’ebizigo.
Era yagambye nti bino bwe yabigattagatta, yakiraba ng’abavubuka bano boogera ebintu ebifaanagana okwo kwe yasinziira okugamba nti baali ku mazima. Omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya, bwe yamusabye okuggumiza oba ddala by’ayogedde ku Wakamala ne Sserugo byava ku kutuusibwako bikolwa bya mukwano gw’ebukukujju n’agamba nti tasobola kukikakasa kuba teyaliiyo.
Omusango gwayongezeddwayo okutuusa nga October 1, 2026 guddemu okuwulirwa